
Bya Ssemakula John
Kampala
Eyaliko omumyuka wa Kamisona mu poliisi, Afande Sam Omala agamba nti emirimu gye yakolera eggwanga naddala mu poliisi tegyogerekeka wabula ate talina kyafunyeemu era tasiimiddwa olw’ebyo bye yakola.
Omala yategeezezza bannamawulire nti yakozesa kwagala n’okwewaayo n’akkakkanya embeera y’obutabanguko bw’ebyobufuzi naye ate yeerabiddwa.
“Nali mulwanyi naye ate nneerabiddwa. Nali nkola buli ekisoboka naye okusiima nga kugenda eri bakama bange. Nasula ku ggeeti ya Besigye okumala ennaku musanvu nga tuli mu ‘Work to Work’ naye byonna tebabijjukira.” Omala bwe yagambye.
Okusinziira ku Afande Omala, omusaala ogwali gumuweebwa gwali tegutuukana na mirimu gy’akola era singa teyali ye n’omugenzi Afande Felix Kaweesi singa gavumenti eno teriiwo essaawa ya leero.
“Mu kiseera ekyo waaliwo enjawukana mu poliisi, abalabe b’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) baali bangi, singa twali tetuyimiriddde ku magulu gaffe ne tugaana singa gavumenti eno tekyaliwo.” Omala bwe yalambuludde.
Omala yeekwasa Afande Kale Kayihura kuba waliwo ab’oludda oluvuganya lwe baali bamuwa enguzi ya bukadde bwa ssiringi 200 abaleke bakole ‘Work to Work.’
“Nagamba Kayihura ku bantu bano, naye teyampa kyankomeredde era bwe nalaba tasalawo nze neng’aana ssente zaabwe era ne bazibuwaliza embeera era ne ng’enda mu maaso n’emirimu gyange.” Omala bwe yagasseeko.
Ono yannyonnyodde nti singa mukama we, Kale Kayihura kino yakitegeeza Pulezidenti Museveni embeera mw’ali yandibadde ya njawulo olwaleero. Omala agamba nti osanga Kayihura yatya okumuwa amayinja mu maaso ga Museveni kuba abapoliisi baali bamanyiddwa mu kulya enguzi, wabula ye n’agaana okulya obukadde 200, ng’akkiriza nti Museveni yandimusiimye n’abaako ky’amuwa.
Omala yannyonnyodde nti talina busungu ku muntu yenna era akyatambuza obulamu bwe era nga yeenyumiriza mu ttoffaali lye yateeka ku by’okwerinda bya Uganda.
Mu kaseera kano Afande Omala yawummula egya poliisi nga mu March 2020 oluvannyuma lw’okuweza emyaka 60 egiragirwa mu mateeka era yeekolera gigye.









