
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye n’asimbula abaddusi mu misinde gya ‘Kabaka Birthday Run’ ez’omwaka 2021 okujjukira amazaalibwa ge ag’emyaka 66.
Ku mulundi guno abaddusi 200 bokka be bakkiriziddwa mu misinde gya Ssande egyayindidde mu Lubiri e Mmengo wansi w’omulamwa, “Abaami tulwanyise Mukenenya, tutaase abaana aboobuwala.”
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga yategeezezza Obuganda nti emisinde gino gyalina kuddukibwa mu mwezi gwa Apuli wabula olw’ebiragiro bya gavumenti ebitangira Corona, basazeewo n’egyomwaka guno bagidduke mu ngeri ya Ssaayansi olw’ensonga nti abantu tebasobola kukung’aana bangi era gwe mulundi ogwokubiri ng’omulamwa gwekuusa ku Mukenenya.

Kino kyaddirira Kabaka okusiima n’alondebwa okubeera Omumuli gw’ekitongole ky’ensi yonna ekya United Nations Programme on HIV/AIDs (UNAIDS) mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya ku Ssemazinga Afirika.
Mu kwogera kwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza nti Obwakabaka bwakukola buli kimu okulaba ng’omwaka gwa 2030 we gutuukira nga Siriimu afuuse lufumo.
“Leero tukung’aanye ne Kabaka waffe okujaguza amazaalibwa ge. Ssaabasajja Kabaka yaweza emyaka 66 mu mwezi gwa Apuli w’omwaka guno era singa si kirwadde kya Corona. Twandidduse mu Ssande etutuusa ku mazaalibwa ge. Naye olw’ensonga eyo, twasalawo amazaalibwa ge okugakuza olwaleero era y’ensonga lwaki tuli wano.” Owek. Mayiga bwe yagambye.

Obwakabaka buzze butegeka emisinde gino okumala emyaka munaana wansi w’emiramwa egy’enjawulo. Okusooka omulamwa gwali ku kirwadde kya kikulukuto mu bakyala (Fistula) ne kuddako ekirwadde kya Nnalubiri (Sickle Cells) olwo Mukenenya naddako.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, ssente ezigenda okuva mu misinde gino zigenda kweyambisibwa okulwanyisa Mukenenya mu Buganda ne Uganda kuba ensi tesobola kukulaakulana ng’abantu baayo si balamu bulungi.
“Bakabaka ba Buganda ebbanga lyonna babadde ku mwanjo okutumbula ebyobulamu. Tujja kugenda mu maaso okulwanyisa Mukenenya ng’abasajja ffe tukulembeddemu okutaasa abaana aboobuwala.” Mayiga bwe yannyonnyodde.
Abantu bangi abawerako baalabiddwako nga bakung’aanye ku Wankaaki w’Olubiri lw’e Mmengo, Oluguudo lwa Nnantawetwa awamu n’ekizimbe kya Bulange era bano we baddukidde n’okukuza amazaalibwa g’Omutanda era bano Beene yasiimye n’ava mu mmotoka ye okubabuuzaako.
Abalala baddukidde ku bitebe by’amasaza gaabwe awamu n’eggombolola wakati mu kugoberera ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
Minisita w’ensonga z’amawulire mu Buganda, Owek. Noah Kiyimba yasabye abantu obutakoma kwegemesa kirwadde kya COVID-19 kuba ensi n’Obwakabaka okugenda mu maaso, abantu balina kubeera balamu.
Owek. Kiyimba era yajjukizza abantu ekirwadde kya Mukenenya engeri gye kikwatamu n’abasaba okukyerinda.
Abeetabye mu misinde gino badduse embiro okuli eza; 5km, 10km, 21km ne 42km.
Byo ebibalo okuva mu kitongole kya UNAIDS biraga nti abantu akakadde kamu n’emitwalo 40 (1.4m) be balina akawuka ka Mukenenya mu Uganda.









