• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’e Kyaddondo ne Busiro beetabye mu Misinde gya Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
November 29, 2021
in Amawulire
0 0
0
Ab’e Kyaddondo ne Busiro beetabye mu Misinde gya Kabaka
0
SHARES
72
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Kyaddondo

Abantu ba Kabaka mu ssaza Kyaddondo baakedde kwetaba mu misinde gy’Omutanda era abamu ku bano baakungaanidde ku luguudo olumanyiddwa nga Bobi Wine Road era baasoose kunyeenya kugaliba enjole ng’ akabonero k’okujaguza olunaku luno.

Ate ku mbuga y’essaza e Kasangati, abaayo baasimbuddwa Omulangira Ssimbwa Khalid ate mu ggombolola ya Nangabo, emisinde gyasimbuddwa RDC w’e Kasangati, Tom Muwonge era wano eyaliko mmeeya wa Kasangati Tonny Ssempebwa yasabye abantu okujjumbira bulijjo okukola Bulungibwansi naddala nga balina enguudo.

Mu Munisipaali y’e Kira mu Wakiso, emisinde gino gyakulembeddwamu omubaka omukyala owa Wakiso, Betty Ethel Naluyima ng’ono yadduse wamu n’abakulembeze abalala okwabadde aba gavumenti eyaawakati wamu ne Buganda.

Buddu

Mu ssaza lya Kabaka e Buddu, okudduka okukulu kwabadde ku Liberation Square e Masaka era ng’omuddusi ow’enjawulo yabadde omwami owa Kabaka amulamulirako essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke.

Mu balala mwabaddemu omubaka omukyala ow’e Masaka, Juliet Nakabuye Kakande era ng’emisinde gino gyasibuddwa Meeya wa masaka, Florence Namayanja.

E Kirumba ku Muteesa 1 Royal University, emisinde gino gyasimbuddwa akulira emirimu ku ssettendekero ono, Birinde Jamiruh ng’ono yeebazizza Empologoma olw’okutumbula ebyobulamu.

E Lwengo omwami wa Ssabasajja atwala eggombolola ya Mituba VII, Kigemuzi Mmande Kabalega yaakulembeddemu abaddusi bano era yasabye abantu bonna bulijjo okufuba okwekuuma akawuka akaleeta Mukenenya era emisinde gino gyetabiddwako n’Omubaka wa Bukoto Mid- West, Muyanja Muhamad Ssentaayi .

Ate bo ab’e Bukomansimbi baakulembeddwamu ababaka baabwe okwabadde; omubaka owa Bukomansimbi North, Dr Christine Ndiwalana Nandagire, Omubaka omukyala Veronica Nannyondo ne Rogers Namanya eyakiikiridde DPC w’e Bukomansimbi n’abalala nga bano badduse okuva mu Town y’e Bukomansimbi olugendo lwa kkiromita 7 mulamba.

Bano beegattiddwako abakulembeze mu disitulikiti ey’e Masaka nga baabadde bakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti,  Joan Namutaawe ssaako n’abaami ba Kabaka okwabadde; Hajji Zakaria Ssali, Mulongo Bakale Kajjeerero, Ssaabagabo Kyanamukaaka n’owa Mutuba I Buwunga -Mpanga, Beatrice Nabiseere.

Bo ab’e Kalungu ku kudduka emisinde bagasseeko okukola bulungibwansi ng’okuva mu ggombolola y’e Lwabenge, Bukulula  ne Kalungu nga bino byajjumbiddwa abakulembezze ab’enjawulo okwabadde; ababaka ba Palamenti, bassentebe b’eggombolola ne bakansala baabwe nga baakulembeddwamu; Nsibambi Frank, Kiraga John ne Nsimbe Vincent.

Wano abakyala we baasinzidde ne basaba abaami bonna okwekomako baleme kufuna na kusaasaanya kawuka ka Mukenenya n’endwadde endala ez’ekikaba .

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.