
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannayuganda naddala abava mu kitundu kya Buganda, okufaayo okuyiga ennimi endala baleme kwemalira ku Luganda lwokka kuba oluusi omuntu tamanya ddi lw’agenda kwetaaga kukozesa lulimi lulala lw’abeera ayize.
Bino Katikkiro Mayiga abyogedde bw’abadde atongoza akatabo akalimu ennimi essatu okuli Oluganda, Oluzungu wamu n’Oluswayiri akatuumiddwa ‘Weesomese Oluswayiri n’Olungereza’ nga kawandiikiddwa James Wasula.
Wano Owek. Mayiga wategeerezza nti takkaanya na kyakufuula Luswayiri lulimi lwa ggwanga kubanga si lwe lulimi olukozesebwa ennyo mu basuubuzi, n’awa gavumenti amagezi okwongera ku nnimi eziwerako waakiri zifuulibwe ennimi z’eggwanga bw’eba tesobola kulondawo lumu.

“Olulimi lye tterekero ly’ebyafaayo n’Obuwangwa n’ennono z’abantu. Engeri gye tuli Obwakabaka, tulina okukuuma olulimi Oluganda okusobola okukuuma ebyaffe.” Mayiga bw’annyonnyodde.
Ye omuwandiisi w’ekitabo kino, James Wasula annyonnyodde nti ekimu ku bintu ekyamuwaliriza okuwandiika ekitabo kino, kwekuba nti abantu baali tebamanyi Luswayiri kyokka nga gavumenti ezaayita ze lwakozesanga okubatulugunya n’okubayigganya nga yakiraba nti kikulu abantu okulumanya n’okulutegeera.
Ate eyayambyeko okukuba ekitabo kino, Frank Kabushenga agamba nti olwafuna akatabo kano , yali mwetegefu okuyamba ku nteekateeka eno kubanga mbagirawo yakalabamu omulamwa.









