
Bya Ssemakula John
Namirembe – Kyaddondo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okuddayo ku nkola ya bajjajjaffe ey’okunnyikiza obwasseruganda kibayambe okwongera okunyweza obumu era basobole okukulaakulana era batumbule embeera zaabwe.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ku kkanisa y’Omutukuvu Paulo e Namirembe ku mukolo muwala wa Minisita Noah Kiyimba, Jane Francis Nalubyayi kwagattiddwa ne mwana munne George Edward Mugambe mu bufumbo obutukuvu.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, bajjajjaffe beeyambisanga obwasseruganda okunyweza enkolagana nga singa abantu ba Kabaka banaddamu okwekwata ku nnono eno, kijja kubeera kyangu Buganda okudda ku ntikko.
Ono agamba nti ennono eno ezingiramu ebintu nga; obufumbo, olulimi awamu n’ebirala nga singa abantu babyekwatako tewali kijja kulemesa Buganda kugenda mu maaso.

Kamalabyonna Mayiga abagole abawadde entanda nti essuula empya ey’obufumbo gye batandise mu bulamu bwabwe bagitambulize ku kutegeeregana n’okuwang’ana ekitiibwa bwebaba baagala okulaba ku bibala by’obufumbo bwabwe.
Ye Omulabirizi Micheal Lubowa bw’abadde agatta abagole, abawadde amagezi babeere bumu ekiseera kyokka era banyweze obwesigwa mu bufumbo bwabwe.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo okuli sipiika wa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, baminisita mu gavumenti ya Ssaabasajja, abakungu ba Kabaka , abaweereza mu Bwakabaka n’abantu mu biti ebyenjawulo.
Mu ngeri yeemu omukolo guno gusombodde ebikonge ebyenjawulo okuli eng’anda n’emikwano ku njuuyi z’abagole bombi okubaawo ng’abajulirwa ku nsonga eno.









