• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

BLB ebangudde abaami ba Kabaka ku ttaka

Gambuuze by Gambuuze
November 25, 2021
in Amawulire
0 0
0
BLB ebangudde abaami ba Kabaka ku ttaka
0
SHARES
52
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Buddu

Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu mu Buganda awamu n’ekitongole kya Buganda Land Board (BLB), babangudde abaami ba Kabaka n’abamyuka baabwe ku ngeri gye basobola okweyambisaamu ettaka awamu n’okulitaasa ku baagala okulibba.

Enteekateeka eno ezingiddemu abaami okuva mu masaza okuli; Buddu, Ssese, Mawogola, Kabula ne Kkooki  ng’omusomo guno guyindidde ku  Maria Floor Hotel e Buddu nga gwetabiddwamu ne Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki.

Mu kwogerako nabo, Minisita Kawuki yabalagidde okukola ekisoboka ettaka ly’amagombolola gaabwe baliteekeko emirimu egitali gimu egiyinza okuvaamu ssente ezisobola okuyimirizaawo ebitundu byabwe wamu n’Obwakabaka, mu kifo ky’okulireka okutwalibwa abasatuusi.

Ono yatenderezza emirimu egikolebwa ekitongole kya Buganda Land Board era n’asaba abaami b’amagombolola awamu n’abaamasaza okukolaganira awamu okusobola okutwala Buganda ku ntikko.

Owek. Kawuki era yalambuludde ku mivuyo egiri ku ttaka naddala mu bitundu bya Buganda era n’awabula gavumenti okukimanya nti mayiro si y’ereeta emivuyo era n’akakasa nti Buganda Land Board eriwo mu mateeka kuba buli kimu ekyayo ekikola mu musana.

Omukungu wa Buganda Land Board,  Kizito Bashiru, yagambye nti ensisinkano eno n’abakulembeze bano ebadde yeetaagibwa nnyo mu kiseera kino eky’okutumbula empeereza n’okunyweza enkolagana wakati y’ebitongole by’Obwakabaka byonna.

Ono yasekeredde abalowooza nti ekitongole kya Buganda Land Board tekiri mu mateeka nti bakomye okusaaga kuba ebiwandiiko weebiri ebikakasa nti eri mu mateeka.

Abaami ab’amagombolola n’amasaza abeetabye mu musomo guno abaakulembeddwamu Ssaabaddu okuva  mu ssaza ly’e Ssese, omwami Nalunga Bunjazi, baagambye nti omusomo guno gwabagasseeko kinene era ne bawera okukuuma ettaka lya Buganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist