
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
AbaluȠȠamya b’emikolo mu Buganda bakubiriziddwa okujjumbira ebibiina by’obwegassi, kibayambe okunyweza obumu awamu n’okwekulaakulanya mu mbeera y’ebyenfuna ekyukakyuka buli ddakiika.
Okusaba kuno kwakoleddwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bulimi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amis Kakomo bwe yabadde alambika abalung’amya b’emikolo ku ngeri gye basobola okutambuzaamu ekibiina kyabwe ekya Aboogezi b’okumikolo United SACCO (ABUSA) n’okufuna obukulembeze mu bimuli bya Bulange ku Lwokusatu.
“Emu ku ngeri gye tuyinza okukola obutaweera buli omu n’atuuka ku ky’ayagala kwe kwegatta. Kaakati mwe aba ABUSA bwemuba ku bwegassi njagala okubasiima kuba muli ku mulamwa gwennyini Bbaffe gw’atugamba era muli ku mulamwa gwennyini ogw’ensonga Ssemasonga eyookuna.” Minisita Kakomo bwe yagambye.

Ono yabasabye okwewandiisa era banyweze obwerufu bwebaba baagala okugenda mu maaso awamu n’okukulaakulana.
Owek. Kakomo bano yabasabye bwebaba bakola emirimu gyabwe bagitambulize ku nnono n’ekitiibwa ky’obufumbo mu Buganda era balage enjawulo wakati w’okwanjula n’ebikeesa oba Disco, kiyambe abaliddawo ennono okugisanga.
Ssentebe w’ekibiina kya ABUSA, Hanington Ssonko Ssembatya yategeezezza nti abaluȠȠmya b’emikolo tebaagala kwenyigira mu bwegassi nga n’abasinga obungi tebaagala kutereka, baafuuka zenkolawo ze ndya kubanga abalung’amya b’emikolo mu Buganda basoba mu 8,000 kyoKka 80 bokka be baasobodde okwewandiisa mu SACCO eno.
Era Ono yalabudde abantu abatannasomesebwa ku nnuȠȠamya y’emikolo nti si baakuddamu kulung’amya mukolo gwonna mu Buganda.
Kinajjukirwa nti obwegassi y’emu ku nsonga Ssemasonga ettaano, Ssaabasajja Kabaka gye yalagira abantu be okunyweza okusobola okutumbula embeera zaabwe era n’okunyweza obumu kuba ge maanyi Buganda kw’eyimiridde.
Bano baategese okulonda anaakulembera ekibiina kino era gye byaggweeredde nga Fred Ssegujja y’alondeddwa okubeera ssentebe era n’awera nti waakuyamba okwongera okutumbula empeereza z’ekibiina kino mu bantu be yaweereddwa okukulembera.









