
Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako e Masaka asindise ababaka ba Palamenti; Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West mu kkooti enkulu mu Kampala batandike okuwerennemba n’emisango gy’ettemu ly’ebijambiya eryali mu kitundu ky’e Masaka.
Olwaleero ku Lwokubiri, omulamuzi Christine Nantege asomye obujulizi oludda oluwaabi bwe lwayanjudde mu kkooti nga buluma ababaka bano nga mu buno mulimu obutambi bwa kkamera obwakwatibwa mu Ndeeba nga bano bategeka okulumba bannamasaka.
Oludda oluwaabi era lulina olukalala lw’essimu ng’ababaka bano boogerezeganya n’abamu ku bakwate abalumiriza ababaka bano okubapangisa okutemula bannamasaka.
Okusinziira ku bujulizi ne Sitetimenti bano ze baakola, ababaka bano baabawa ensimbi wakati w’emitwalo 5 n’emitwalo 10 buli lwe baasisinkananga mu nkiiko mu Kampala.
Emisango egibavunaanibwa
Ababaka bano bavunaanibwa emisango ena okuli; Obutemu, okugezaako okutta abantu awamu n’okuwagira obutujju obwakolebwa ku bannamasaka gye buvuddeko.
Kinajjukirwa nti abantu abawera 29 be battibwa mu ttemu lino ku ntandikwa y’omwaka guno.
Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga mu September yategeeza nti abamu ku baakwatibwa be baalonkooma ababaka bano nga bwe baabawa ssente mu nkung’aana z’okulumba ekitundu ky’e Masaka era ne bakakasa nti enkiiko zino zaatuulanga Ndeeba mu Kampala era byonna bye baakola baali baduumirwa ababaka bano.
Ye Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen David Muhoozi yategeeza eggwanga ng’ettemu lino bwe lyategekebwa obulungi okusobola okutondawo obunkenke mu bantu.
Ono agamba nti mu bulumbaganyi, bano baalumba abantu ab’ekika ekimu mu kiro olwo ne batandika okutemaatema abantu wabula tewali kintu kyonna kye baalinga batwala.









