• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita asabye Buganda Land Board okukolera awamu n’abaami b’amagombolola abaggya

Gambuuze by Gambuuze
November 19, 2021
in Amawulire
0 0
0
Minisita asabye Buganda Land Board okukolera awamu n’abaami b’amagombolola abaggya
0
SHARES
69
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Luweero – Bulemeezi

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda era avunaanyizibwa ku  ntambula z’Omutanda n’abantu be ab’ebweru, Owek. Joseph Kawuki asabye ekitongole kya Buganda Land Board okukolagana obulungi n’abaami ba Ssaabasajja Kabaka abakulembera amasaza okuli Bulemeezi ne Buluuli, kiyambe okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.

Okusaba kuno Minisita Kawuki yakukoledde Luweero ku Luweero Diocese Guest House awaategekeddwa omusomo gw’okubangula abaami abaggya mu ssaza ly’e Bulemeezi ku Lwokusatu.

Mu ngeri y’emu Minisita yasabye abaami bano okwenyigira mu nteekateeka za Ssaabasajja Kabaka omuli  emisinde ssaako n’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya, Emmwanyi Terimba awamu n’okugaba omusaayi, kiyambeko okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga.

Bano Minisita abasabye okubeera abagumu ku kusomooza okw’ enjawulo kwebasanga kuba bino byonna bisobola okuwangulwa nga Buganda eri wamu .

Omwami ow’essaza Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo yasanyukidde omusomo guno n’ategeeza nti nga bo tegugenda kubaleka kye kimu mu nzirukanya y’emirimu n’awera nti singa Obwakabaka butambulira wano, kijja kuba kyangu Buganda okudda ku ntikko.

Akulira ekitongole kya Buganda Land Board (BLB), Omukungu Kaboggoza Simon yasabye abaami b’amagombolola okuddayo basomese abantu ba Beene ku byalo amateeka agakwata ku ttaka era n’obuvunaanyizibwa bwabwe we bukoma ku nsonga eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist