
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka busse omukago n’ekitongole kya Institute of Rural Education and Development (IREAD) ekirafuubana okutumbula ebyensoma y’abaana abato mu bitundu bya Buganda.
Omukolo gw’okuteeka omukono ku ndagaano eno gubadde mu Bulange- Mmengo era Minisita w’ebyenjigiriza n’embeera z’abantu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma y’ataddeko omukolo ate May Virji n’assaako kulwa IREAD.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule nga y’akiikiridde Katikkiro ku mukolo guno, era abaddewo okukakasa endagaano eno.
Mu bubaka bwe obumusomeddwa Owek. Mugumbule, Katikkiro Mayiga agambye nti abaana abatasomye balina obuzibu bungi eri eggwanga era baleetera abantu okufuna obuvune obutali bumu nga basaanye okuweebwa omukisa basobole okufuuka ab’omugaso.
“Obwakabaka bwa Buganda bwenyumiriza nnyo mu kutumbula ebyenjigiriza era kino kirabikira mu nteekateeka z’Obwakabaka awamu n’emikago gye birina okuggusa enteekateeka eno. Tulina essuubi mu mukago gonna era twagala okulaba nti guvaamu ebibala era gugaziwe.” Owek. Mugumbule bw’ategeezezza.]

Okusinziira ku bubaka bwa Katikkiro Mayiga, Buganda eyagala okuweereza obulungi abantu baabwo nga bubatuusaako ebyenjigiriza, ebyobulamu awamu n’enteekateeka ezitumbula embeera zaabwe era n’ategeeza nti omukago guno gwakuyamba okusembereza abantu ebyenjigiriza.
Mugumbule ku lulwe annyonnyodde nti ensi teyinza kukulaakulana nga terina baana basomye kubanga emiti emito gye giggumiza ekibira. Yeebazizza aba IREAD olwomukago guno n’agamba nti kijja kwongera okuzimba ensi ng’abato babanguddwa.
Ye omukungu w’ekitongole kya IREAD, May Virji ategeezezza nti baagala okukyusa embeera y’abaana abato abasembayo mu byalo naddala abatalina busobozi basobole nabo okufuna omukisa okusomako kikyuse obulamu bwabwe.
Virji agasseeko nti singa abaana abakyali abato baweebwa omukisa, kijja kuzimba obwongo bwabwe era basobole okubeera ab’omugaso era bavvuunuke n’okusoomoozebwa kwe basanga mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.
Ono asabye gavumenti okufaayo ku nsoma y’abaana abato kuba kino kiwadde bannakigwanyizi okusalawo ku biseera by’eggwanga eby’omu maaso era abasobodde okufuna omukisa beebo abaana abali mu bibuga era abalina ssente, olwo abalala ne balekebwawo nga kino kirina okukyuka mu bwangu.









