• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obwakabaka bwa Buganda butambulira ku masiga asatu

Gambuuze by Gambuuze
November 16, 2021
in Agafa e Mengo, Endowooza
0 0
0
Obwakabaka bwa Buganda butambulira ku masiga asatu
0
SHARES
311
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Kyewalabye Male David

Ku Lwokubiri ng’ennaku z’omwezi 2 Museenene, 2021 olupapula lw’amawulire olwa New Vision lwafulumya ekirowoozo ekyawandiikibwa Mw. Kateregga Ahmed, wansi w’omutwe ogugamba “Why Buganda clan leaders should be in charge of Mengo”, ekivvuunulwa nti “Lwaki Abakulu b’Ebika mu Buganda be balina okutambuza emirimu e Mmengo”.

Mu kirowoozo ekyo, omuwandiisi yategeeza nti Abataka Abakulu b’Ebika mu Buganda be basaana okuddukanya ensonga z’Obwakabaka bokka awatali kuyambibwako baami, omuwandiisi be yayita bannabyabufuzi.
Njagala okubaako ensonga ze ntangaaza ku bimu kw’ebyo omuwandiisi bye yawandiikako bye nkakasa nti tebyawandiikibwa mu mutima gutwala Buganda mu maaso, wabula okwagala okwongera okuginafuya okuyita mu kwawulayawula mu bantu ba Kabaka.

Ng’olukiiko lw’e Nnono terunnaba kubaawo, Abataka Abakulu b’Ebika mu Buganda kyenkana baali mu kiti kya Kabaka, era nga buli omu yetwala nga bw’ayagala ng’afuga abazzukulu be abaawangaaliranga kumpi mu kifo kimu. Kino kyavangako entalo wakati w’Abataka ab’enjawulo mu kaweefube w’okunyweza obwakabaka bwabwe.

Mu kutuuza olukiiko lw’e Nnono, Kato Kintu yaluubirira okugatta Abataka ab’enjawulo wansi w’ekitikkiro kya Kabaka ng’omukulembeze ow’oku ntikko. Abataka bwe batyo ne basigaza obuvunaanyizibwa bw’okukulembera abazzukulu mu Bika byabwe era nga bavunaanyizibwa ku kulambika obuwangwa n’ennono n’okusiiga bazzukulu baabwe mu buweereza mu Lubiri lwa Kabaka.

Waliwo eby’okuyiga ebikulu bisatu bye tufuna mu lukiiko lw’e Nnono: ekisooka, okulondebwa kwa Kato Kintu okuba Kabaka ye yali entandikwa y’ensengeka y’obukulembeze obuli wansi w’ekitikkiro kya Kabaka; ekyokubiri, Abataka abakulu b’Ebika mu Buganda baawaayo obuyinza bwabwe eri Kabaka ng’omukulembeze ow’oku ntikko; ekyokusatu, okutandika kw’ensengeka y’obukulembeze mu Buganda etambulira ku masiga asatu okuli Abalangira, Abataka n’Abaami nga be bazzukulu okuva mu bika eby’enjawulo. Katikkiro wa Kintu eyasooka yali Kakulukuku mutabani wa Mukiibi Ndugwa.

Kabaka yaweebwa obuyinza mu nnono okulonda abaami abakulirwa Katikkiro okumuyambako okutambuza emirimu mu Bwakabaka. Obuyinza buno tebwamukugira ku kika ky’abantu b’alina okulonda nga mwe muli n’Abataka. Kino kyagendererwamu okukuuma ekitiibwa kya Kabaka okumwewaza okuweebuulwa, okwandivudde mu kulemererwa okukola emirimu ng’abantu bwe bamusuubira oba ensobi endala zonna ezandimuviiriddeko okusoowagana n’abantu be. Eky’okulabirako, Katikkiro wa Buganda mukulembeze wa nnono era alina emirimu emitongole gy’akola mu nnono ku lwa Kabaka.

Obwakabaka buzze buyita mu nkyukakyuka ez’enjawulo ku mirembe gya Bassekabaka ab’enjawulo naddala bwe kituuka ku nsengeka y’obukulembeze. Kabaka wa Buganda alina obuyinza mu nnono okukyusa obulombolombo ku lw’obulungi bw’ensi ye.

Mu nkyukakyuka ezo, ekiseera kyatuuka Abataka ne basaba okuva mu bwami, ne basigaza omulimu omukulu ogw’okulamula Ebika byabwe n’okuwabula Kabaka ku nsonga ez’enjawulo, ko ne bazzukulu baabwe abali mu bwami. Abaami bonna mu buweereza bava mu Bika eby’enjawulo era nga bawulirira nnyo mu Bajjajjaabwe.
Abafuzi b’amatwale we baatukira mu Buganda baasanga Kabaka Mwanga alina Abaami be omwali Katikkiro, Omuwanika, Omulamuzi, Abaami b’Amasaza n’Abakungu abaakuliranga ebitongole eby’enjawulo. Nabwekityo, tekiba kituufu okugamba nti obukulembeze bw’Abaami bwaleetebwa bafuzi b’amatwale.

Kisoboka okuba nti Abaami abaateeka emikono ku ndagaano y’olwenda (1900) ku lwa Ssekabaka Daudi Ccwa eyali omuto mu kiseera ekyo, baakulembeza ebigendererwa byabwe ng’abantu. Era eyo eyinza okuba nga y’emu ku nsonga ezaaviirako Abataka okwesamba enteekateeka eyo. Kino kyaviirako Abataka abamu n’okugaana okufuna ebyapa ku ttaka, nga bagamba nti kyali kikyamu okwegabanya ettaka lya Kabaka nga taliiwo. Tewali bujulizi bulaga nti Ebika byammibwa ettaka mu nteekateeka eyo.

Obwakabaka we bwataagulwataagulwa mu 1966, Kabaka n’Abaami be bonna bawaŋŋangusibwa era amasiga gombi ne gasaanyizibwawo. Olw’okuba Abataka tebaali mu buweereza bwali bwekuusa ku byabufuzi, ly’essiga lyokka eryawona okusaanyizibwawo. Abataka bwe batyo ne basigala nga batambuza emirimu gy’obuwangwa n’ennono awatali abakuba ku mukono. Ensonga eno ennyonnyola bulungi lwaki Olukiiko lw’Abataka lwali ku mwanjo nnyo mu kulaba nti Obwakabaka buddawo okuviira ddala eyo mu myaka gy’ensanvu ku bukulembezi bwa Pulezidenti Iddi Amin.

Newaakubadde gwali gutyo, tekiba kituufu okugamba nti olutalo lw’okuzzaawo Obwakabaka lwalwanibwa Bataka bokka. Mu kaweefube w’okulaga obukulu bw’essiga ly’Abaami, Ssaabataka yalonda Olukiiko lwa Ssaabataka olw’oku ntikko olwakulemberwa omugenzi Joseph P. Musoke. Olukiiko luno lwaliko Abataka ab’enjawulo ng’Omutaka Ndugwa Grace Ssemakula, naye nga abakiise abasinga baali bazzukulu.

Olukiiko olwo nga lukolaganira wamu n’Olukiiko lw’Abataka baakola nnyo okulaba nti Obwakabaka buddawo. Abakiise ku nkiiko zombi baagendanga mu nteeseganya z’okuzzaawo Obwakabaka mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe gye baasisinkana Pulezidenti Museveni. Okulafuubana okuzzaawo Obwakabaka kwesigamizibwa ku kuba nti amaanyi g’abaganda bonna gali mu Bwakabaka era nga buggumira nga Kabaka atudde ku Nnamulondo.

Olw’obwetaavu obwaliwo mu kiseera ng’Obwakabaka bwakaddawo, Kabaka Mutebi y’alonda Abataka omwali Omutaka Ndugwa, Omutaka Kayita, Omutaka Kayiira okuweereza mu ssiga ly’abaami. Olw’okwogala okunyweza ensengeka y’obukulembeze mu Bwakabaka, Abataka baasaba Kabaka abawummuze mu buweereza bw’obwami okusobola okufuna obudde okuddamu okunyweza Ebika byabwe. Ekyo nno kitegeeza nti tewabangawo kigendererwa kya kugoba Bataka mu buweereza e Mmengo.

Mu lukyala lwa Ssaabasajja Kabaka olusembyemu mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero, Kabaka yawerekerwako Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine K. Mutumba ne Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga, akulira essiga ly’Abaami. Kino kyayongera okulaga obukulu bw’amasiga asatu mu Bwakabaka era ne kyeraga lwatu nti amasiga gonna geenyigira mu kutambuza Obwakabaka.

N’olwekyo, ekirowoozo kya Mw. Kateregga ekigamba nti Abataka Abakulu b’Ebika bokka be balina okutambulirako emirimu mu Bwakabaka kivvoola enteekateeka Bajjajjaffe gye baateekawo ey’amasiga asatu. Enteekateeka ya Baganda eyo efaananira ddala enteekateeka y’omulembe guno ey’okwawula obuyinza mu masiga agatambuza gavumenti okuli paalamenti, kabineeti n’essiga eddamuzi.

Omuwandiisi ye Minisita wa Kabaka ow’Obuwangwa, Embiri n’Obulambuzi (Avunaanyizibwa ku bifo eby’Enkizo, Amasiro, Ebyokwerinda, Okunoonyereza n’olulimi Oluganda).

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.