Bya Ssemakula John
Kampala
Abapoliisi abawerera ddala 19 be bafunye ebisago mu butujju bwa bbomu ebbiri ezaategeddwa mu kibuga Kampala.

Bbomu zino zibwatukidde ku luguudo lwa Parliamentary Avenue n’endala okuliraana poliisi ya CPS mu Kampala wabula tekinnamanyika bantu bameka abatuufu abafunye ebisago.

Ensonda mu bisawo e Mulago ewatuukirwa abafunye obubenje zitegeezezza nti abapoliisi abafunye ebisago olwa bbomu zino bawera 15 wabula waliwo n’abapoliisi abalala babiri abatuusiddwa ku ddwaliro ekkulu e Mulago, ekituusizza omuwendo gw’abapoliisi abafunye ebisago ku bantu 17.

Oluvannyuma lw’enjega eno, poliisi eyungudde abawanvu n’abampi okutandika okukuuma ebizimbe bya gavumenti awamu n’okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga.









