
Bya Ssemakula John
Kampala
Ebimu ku bizuuse ku kubwatuka kwa bbomu okubaddewo mu kibuga ku makya g’Olwokubiri leero ku luguudo lwa Parliamentary Avenue awamu ne ku mulyango oguyingira poliisi ya CPS, kutwaliddemu obulamu bw’abantu abawerako.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire oluvannyuma lw’okubwatuka kwa bbomu zino, Mmeeya w’amasekkati ga Kampala, Salim Uhuru ategeezezza nti omu ku bantu abafudde abadde mukwano gwe.
“Mbadde ntudde ku wooteeri yange ne mpulira okubwatuka okwamaanyi. Ntambudde okutuuka ku poliisi ya CPS. Kibi nnyo kuba omu ku bantu abafudde mukwano gwange ayitibwa Katongole. Abasinga mumumanyi akolera mu bitundu bya wano.” Uhuru bw’ategeezezza bannamawulire.
Mmeeya Uhuru asinzidde wano n’asaba abantu okubeera ku bwerinde kuba abantu bano bamalirivu nga bwebaba balumbye poliisi mu kibuga wakati basobola okulumba awantu awalala wonna.
Ebifo awabadde okubwatuka kuno bisaliddwako eb’ebyokwerinda awamu n’ekitongole kya Red Cross okusobola okutaasa abafunye ebisango ate nga bo abantu ababadde mu bizimbe ebiriraanyeewo awamu n’enguudo ez’enjawulo mu kibuga, poliisi ebalagidde okudda ewaka ng’etya ebiyinza okuddirira









