Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minisita w’eby’obuwangwa, ennono, obulambuzi, embiri, olulimi n’ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male agamba nti kaweefube wa Buganda okubanja Federo tenoonya kitiibwa, wabula eyagala kutuusa mpeereza ku bantu baayo.
Okulambika kuno, Owek. Kyewalabye akukoledde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bannakyaggwe, abasawo b’ekinnansi, ab’ekika ky’Empindi ne Mutuba VIII -Kikandwa okuva e Ssingo.
“Okugema okwawedde mu Ssabbiiti emu nategedde nti twasusse omutwalo gumu n’ekkumi nnya mu bantu abagemeddwa. Kati alina ebintu byaffe abikutte nga Federo aba akyayagala ki? Okuggyako weema ze baalese wano tewali ssente ze baatuwadde kukola omulimu ogwo. Kitegeeza nti Buganda esobola okukola ku nsonga zaayo, bwetuba twogera ku Federo tetunoonya kitiibwa naye tunoonya okukola ku nsonga zaffe ezigenda okuggya abantu mu bwavu.” Owek. Kyewalabye bw’agambye.
Okukkaatiriza kino, Minisita Kyewalabye anokoddeyo okugaba omusaayi, emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka n’okugema okwekikungo, Emmwanyi Terimba ng’ebimu ku bintu ebitono Buganda by’ekoze n’eteekawo likodi ku mutendera gw’ensi yonna.
Owek. Kyewalabye asabye abaami ba Kabaka okutwala enteekateeka za Buganda mu maaso kiyambe abantu be baweereza okweggya mu bwavu ne Buganda edde ku ntikko.
Ono ajulizza ebyafaayo okukakasa Buganda n’okukola ebyafaayo nti n’abazungu bwe bajja kuno beewuunya enteekateeka eyaliwo kuba wadde baalowooza nti Afirika ekyali mabega baasanga Buganda esolooza, omusolo, ng’erina olukiiko n’omukulembeze Ssaabasajja Kabaka eyali aweebwa ekitiibwa.
Owek. Kyewalabye agambye nti ennyumba Buganda yabangibwa mu bika bya Buganda ebiwerera ddala 55 era endagaano ya Ssekabaka Kato Kintu e Nnono ne bawaayo obumu ku buyinza bwabwe eri Ssaabataka, mwalimu okuyimirizaawo Ssaabataka nga kino kirambikira nnyo mu luwalo.
Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki akubirizza abantu okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna kuba zitegeddwa ku baganyula na kutumbula mbeera zaabwe.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Boogere yeebazizza ab’ekika ky’Empindi okukulemberamu okuleeta Oluwalo luno era n’awera okuweereza abantu ba Kabaka.
Ate Ssentebe w’abasawo b’ekinnansi e Kyaggwe, Male Moses Byekwaso agamba nti ekibaleetedde okwenyigira mu nteekateeka eno kwe kubaako ettoffaali lye bazza eri Obaganda.
Bano abakiise Embuga baleese Oluwalo lw’obukadde obukunukkiriza mu 12 era ne bawera okwongera okutambulira awamu ne Ssaabasajja Kabaka.