Bya Ssemakula John
Kampala
Abasawo abatabula eddagala ly’ekinnansi mu ggwanga balabuddwa okwewala okugattika eddagala lyabwe n’ezzunga, kuba kino kya bulabe eri abantu abalikozesa era ne basabibwa kino okukomezebwa mu bwangu ku abo ababadde bakikola.
Okulabula kuno kukoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’eddagala mu ggwanga ekya ‘National Drug Authority’ bwe kibadde kibangula abasawo bano ku ngeri gye bayinza okusitula omutindo gw’eddagala lyabwe e Luweero ku Lwokusatu.
Avunaanyizibwa ku ddagala ly’ekinnansi mu kitongole kino, Micheal Mutyaba agamba nti NDA eyagala abasawo b’ekinnansi batandike okuwandiisa eddagala lyabwe kikendeeze ku bulabe obuva mu kukozesa eddagala nga teririna bipimo, ekiyinza okuviirako abalwadde abamu okunywa eriyise mu kigero.
Ate ye akulira ebyobulamu mu Luweero, Vincent Nkonwa annyonnyodde nti kino kibadde kyalwawo kuba alipoota ze bafuma okuva ku maduuka agatunda eddagala ly’abantu ziraga nti babadde bagula eddagala ly’amaanyi g’ekisajja ne balitabika mu lyabwe ery’ekinnansi.
Abamu ku basawo b’ekinnansi ababanguddwa balaze nti okubangulwa kuno baakukukozesa okwongera omutindo ku bye bakola kyokka ne bawera okulwanyisa abo bonna abanaasangibwa nga tebagoberera mateeka.