• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Tuli beeteefuteefu okussa endagaano ekomyawo ebintu bya Buganda mu nkola – Minisita Magyezi

Gambuuze by Gambuuze
November 3, 2021
in Amawulire
0 0
0
Tuli beeteefuteefu okussa endagaano ekomyawo ebintu bya Buganda mu nkola – Minisita Magyezi
0
SHARES
73
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti eyaawakati, Raphael Magyezi ategeezezza nti Minisitule ye nneetegefu okuteeka mu nkola endagaano eyassibwako emikono wakati wa Ssaabasajja Kabaka ne Pulezidenti Yoweri Museveni mu 2013 ng’ekomyawo ettaka n’ebizimbe bya Buganda.

Obweyamo buno Minisita Magyezi abuweeredde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga ne baminisita b’Obwakabaka aba gavumenti ez’ebitundu ku Lwokusatu.

“Tulina endagaano eyakolebwa wakati wa Ssaabasajja Kabaka ne Pulezidenti mu 2013. Ndi wano okukakasa Katikkiro nti ffe aba Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu twetegese okugissa mu nkola nga tetulina kubuuza. Kitukakatako okugiteeka mu nkola ng’abakulu bwe bagirambika.” Minisita Magyezi bw’agambye.

Ono annyonnyodde nti kino okutambula balina okulonda akakiiko akagenda okutuulako abantu okuva ku njuuyi zombi balabe endagaano bw’egamba nti ku gavumenti z’ebitundu era balambule okulaba embeera y’ebizimbe n’ettaka era baweeyo lipoota ku ngeri gye basobola okukwataganamu, omulimu gusobole okutambula mu bwangu.

Magyezi agamba nti gavumenti esobola bulungi okukwatagana ne Buganda okutumbula Bulungibwansi n’okukuuma obutonde nga beeyambisa abakulembeze ku njuuyi zombi awamu n’enkulaakulana y’abantu egendereddwamu okuggya abantu mu bwavu ku mutendera gw’emiruka eya ‘Parish Model.’

Minisita Magyezi yeebazizza Katikkiro Mayiga,  Minisita Christopher Bwanika n’Owek. Kawuki olw’okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Lumiimamawuggwe (COVID-19) kuba kibadde kiwanise amatanga.

Mu kwogera kwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti waliwo amakubo asatu agasobola okukozesebwa gavumenti okutereeza obusenze bwayo ku ttaka n’ebizimbe bya Buganda bayita mu kufuna  liizi ku bifo gavumenti by’emaze okukulaakulanya.

Owek. Mayiga agambye nti engeri endala kwe kupangisa ebifo bino nga basobola okukkaanya okulaba engeri gye basasulamu ssente oluvannyuma lwa buli bbanga eggere. Ekirala ono agamba nti baba basobola okuvaawo oba okugulawo singa balaba nga wakulu nnyo naye byonna ekibifuga kwe kuwuliziganya n’okuteesaganya.

“Tukolagane tuleme kumala budde tubumala mu kusika omuguwa mu bintu  ebitono ebisobola okutereezebwa.” Katikkiro  Mayiga bw’ategeezezza.

Kamalabyonna agamba nti beetegefu okuwuliziganya ne Minisitule ekulemberwa Minisita Magyezi, munnayuganda asobole okuganyulwamu.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, abantu Buganda b’ekulembera ne gavumenti b’eweereza be bamu nga walina okubaawo okuwuliziganya ku njuuyi zombi ku nteekateeka ez’enjawulo gye basobola okuyambamu abantu nga batumbula embeera zaabwe awamu n’enkulaakulana.

“Bye tulina okuwuliziganyaako bingi, okusooka mu 1993  Ssemateeka yakyusibwa Obwakabaka ne buzzibwawo era mu budde obwo ebintu ebiwerako  eby’Obwakabaka gavumenti n’ebiddiza Ssaabasajja Kabaka. Ate ekirungi mu 1995 Ssemateeka bwe yali ng’ayisibwa, mulimu essuula nnamba ekwata ku bukulembeze obw’ennono. Ate mu 2013 Ssaabasajja Kabaka ne Pulezidenti baateeka omukono ku kiwandiiko ekirung’amya ebiri mu tteeka lya 1993.”

Etteeka lya 1993 eryazzaawo Obwakabaka lyakirambika nti ebimu ku bintu ebyali bitakomyewo byali byakudda nga bayita mu kuteesa era zino zibaddewo nga ze zaavaamu endagaano ya 2013.

Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti nga Buganda balina amakubo asatu ge balowooza  mwe bayinza okuyita okutereeza ensonga zino.

Ono asabye wabeewo enteeseganya ku nteekateeka ez’enjawulo gavumenti z’erina ku lw’obulungi bw’abantu nga batumbula emmwanyi nga bwekiri mu Mmwanyi Terimba, okukulaakulanya emiruka, okuyamba abavubuka n’abakadde nga bakozesa abaami ba Kabaka abatuuka wansi mu byalo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.