Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Democratic Party (DP) kirabudde gavumenti, ebitongole ne kkampuni ezitandise okugaana abantu abatali bageme okuyingira mu woofiisi zaabwe, okweddako kuba kino kimenya mateeka.
Omuwabuzi w’ekibiina kya DP ku nsonga z’amateeka, Luyimbaazi Nalukoola nti bw’eba nga gavumenti eyagala okukozesa kino okukunga abantu okwegemesa, balina okuddayo mu mateeka okunoonya we bayinza okwekwata.
Bino Nalukoola yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde ku City House mu Kampala ku Lwokubiri.
“Ekibiina kya Democratic Party kyagala ebitongole bya gavumenti okukulembeza amateeka mu bye bakola so si kukola nga bwe baagala kuba kiba kimenya mateeka.” Nalukoola bwe yagambye.
Bino we bijjidde ng’ebimu ku bitongole bya gavumenti bigaanye abantu abatannaba kwegemesa okuyingira mu bizimbe byabwe, mu bano mulimu; National Medical Stores, National Drug Authority, Ministry of Health n’ebirala.
Abamu ku bakulu omuli amyuka Ssaabawandiisi wa NRM, Rose Namayanja yavaayo n’awagira eky’okugaana abatannagemebwa okuyingira mu woofiisi zino, ng’agamba nti kijja kuwaliriza abantu okwongera okwegemesa batuuke waakiri obukadde 4.8 Decemba w’anaatuukira.
Okusinziira ku Minisitule y’ebyobulamu, mu kadde kano abantu obukadde 3 bwe bwakagemebwa n’eddoozi esooka.