Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya Democratic Party (DP) kisabye gavumenti eby’okuggyawo okweyimirirwa ku misango eminene by’eyagala okutuukako, bisindikibwe mu bantu bikubweko akalulu ak’ekikungo kuba kye kigenda okuyamba okutaasa Ssemateeka w’eggwanga.
Enteekateeka zino zaayanjuddwa amyuka omuwabuzi w’ekibiina kino mu nsonga z’amateeka, Richard Lumu bwe yabdde ayogerako ne bannamawulire ku City House mu Kampala era n’akakasa nti, kino baakikkaanyako mu lukiiko lwa ‘National Executive Council (NEC),’ ng’erimu ku makubo mwe bayinza okuyita okukuuma ennyingo 23 (6)a, b, ne c mu Ssemateeka.
“Twawaddeyo ebbaluwa yaffe eri akakiiko k’ebyokulonda nga tusaba okuleeta ekiteeso bategeke akalulu k’ekikungo kuba eby’okuggyawo eddembe ly’okweyimirirwa, bikontana n’eddembe ly’obuntu.” Lumu bwe yagambye.
Bannakibiina kino bakkiriza nti singa eddembe lino linaggyibwa ku bannansi, kiba kitegeeza nti omuntu omusango guba gumusinze nga tannaba na kuwozesebwa, ekintu ekikyamu.
“Tukkiriza nti bannayuganda be bateekeddwa okusalawo oba eddembe ly’okweyimirirwa liggyibwawo, baleke bannayuganda beesalirewo ku nsonga eno.” Lumu bwe yagasseeko.
Lumu era yannyonnyodde nga mu wiiki eziddako bwe bagenda okutalaaga eggwanga lyonna nga banoonya emikono gy’abalonzi obukadde 2, ng’amateeka bwe galagira okusobozesa akakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu k’ekikungo ku nsonga y’okweyimirirwa.
Ono agamba nti singa bafuna emikono gino basuubira kkooti okugaana Palamenti okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno kuba ebeera efuuse ya kalulu ka kikungo.
Kino kiddiridde olukiiko lwa Kabineeti okwanjula ekiteeso ky’okukola ennongoosereza mu nnyingo 23 (6) (b) eya Ssemateeka, egaane abantu ababeera bazzizza emisango eminene obutaweebwa kweyimirirwa mu kkooti enkulu, n’ezo eziri wansi waayo okutuusa nga wayise ennaku 180 oba ng’omusango gutandise okuwulirwa oba ng’omuwaabi wa gavumenti omukulu omusango aguggyeeyo ng’ennaku ezo tezinnaggwaako.
Ssentebe w’olukiiko lwa Kabineeti era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasaba Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka okulambika Kabineeti ku ngeri gye basobola okukolamu ennongoosereza zino.
Wabula DP egamba nti nga bo abakkiririza mu mazima n’obwenkanya, bagenda kukola kyonna okulaba ng’eddembe lino teriggyibwa ku bannansi.