
Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awaddeyo kapyata w’emmotoka Toyota Hillux eri ekitongole kye ekya BUCADEF, okubayambako okutumbula ebyobulimi n’obulunzi mu bantu be okusobola okweggya mu bwavu.
Omukolo gw’okukwasibwa emmotoka eno gubadde mu Bulange- Mmengo leero ku Lwokubiri nga gukoleddwa omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Hajji Twaha Kaawaase Kigongo.
Owek. Kaawaase bano abalabudde okwewala okukozesa emmotoka eno mu mirimu egitali gya Bwakabaka kuba giyinza okwonoona ekitiibwa kyayo.
“Nkukwasa ekidduka kino eri ekitongole kyaffe ekya BUCADEF kuba kisaale nnyo okutambuza ensonga ezituukira ddala ku muntu owaabulijjo owa Ssaabasajja Kabaka.” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza.
Eyakiikiridde Ssenkulu wa BUCADEF, Muwanga Samuel ategeezezza nti emmotoka eno egenda kubayambako okutuuka ku muntu asembayo okubeera ewala mu kyalo okusobola okumuyamba okwekulaakulanya.
Oluvannyuma aba BUCADEF bakwasiddwa emmotoka eno mu butongole ate ebadde ekaddiye n’etwalibwa okuterekebwa.









