Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Museveni era omuduumizi w’ebitongole by’ebyokwerinda ow’oku ntikko, Yoweri Kaguta Museveni alonze eyali omuduumizi w’eggye erimukuuma erya ‘Special Forces Command, Maj. Gen. Don Nabasa ng’omuduumizi wa poliisi y’amagye omuggya.
Ensonda ezeesigika zitegeezezza nti enkyukakyuka zino zaalangiriddwa ku Mmande akawungeezi, nga mu zino Nabasa yasikiddwa Brig. Keith Katungi abadde omuduumizi w’ekibinja ky’eggye lya Uganda mu Somalia.
Nabasa bwe yava mu ggye lya SFC yasikirwa Maj. Gen. James Birungi era y’akyaliduumira.
Nabasa yali yasindikibwa okutendekewa e China mu National Defence College g’eno gye yava n’asindikibwa mu Somalia mu August w’omwaka oguwedde ng’adda mu bigere bya Brig.Richard Otto okulira AMISOM.
Nabasa yalabwako ng’ayamba okuwa abajaasi ba UPDF ababadde bakuuma Somalia ab’ekibinja kya ‘Battle Group 30’ emidaali nga October 15.
Kitegeerekese nti Nabasa agenda kukwasibwa woofiisi eno mu Decemba oluvannyuma lw’obuweereza bw’abaddeko e