Bya Musasi Waffe
Bulange – Mmengo
Abasawo abajjanjaba nga bayita mu buwangwa n’okutabula eddagala ly’ekinnaansi abeegattira mu kibiina kya ‘National Council of Traditional Healers and Herbalists Association (NACOTHA), basabye Obwakabaka okubayamba mu nteekateeka yaabwe okukuuma n’okutaakiriza omuddo n’emiti egivaamu eddagala lye beeyambisa okujjanjaba abantu.
Okusaba kuno bakukoze enkya ya leero ku Mmande bwe babadde basisinkanye Minisita w’Obuwangwa, Obulambuzi n’Embiri mu Bwakabaka, Owek. David Kyewalabye Male mu Bulange e Mmengo mwe boogeredde ku ngeri gye basobola okutambuza emirimu gyabwe wansi w’okulambikibwa kwa Buganda.
Mu nsisinkano eno, Owek. Kyewalabye Male asabye okusitula omutindo gw’omulimu gwabwe ng’eno y’engeri gye basobola okusikiriza abalala okugweyunira wamu n’okuguwa ekitiibwa.
“Omuwendo gw’abantu abejjanjabisa obutonde guli waggulu nnyo ku gw’abagenda mu malwaliro ag’ekizungu. Mbasaba mwongere okukola okunoonyereza ku ddagala lye mukola okusobola okusitula omutindo gwalyo, kisobozese abantu abalala okwettanira eddagala lyaffe ery’ekinnansi.” Owek. Kyewalabye bw’agambye.
Akola nga Ssentebe w’ekitongole kino, Dr. Alex Victor Biomark Tugume ategeezezza nti Buganda bwe Bwakabaka obusinga obukulu mu Uganda era nga bwe bulina okuba obusaale mu nteekateka y’okukuuma eddagala ly’ekinnansi.
Minisita Kyewalabye ayanirizza ekirowoozo kye bamuwadde eky’okukola omukago ne Buganda, era n’abasuubiza okutambulira wamu nabo, okukuuma ebyo bajjajjaffe bye baaleka.
Abasawo bano batonedde Minisita Kyewalabye erimu ku ddagala lye bakola omuli eriwonya Ssennyiga Lumiimamawuggwe n’erisenya amannyo.
“Obwakabaka bwa Buganda bubadde busaale nnyo mu kutumbula obuwangwa bw’abaddugavu wano mu Uganda, tusuubira nti bwe bulina obusobozi okutuyambako mu kukuuma emiti n’omuddo gwe tweyambisa okuvaamu eddala obutasaanawo.” Dr. Tugume bw’agasseeko.
“Mu kiseera kino tulina obuzibu bw’okuvuganyizibwa eddagala eriva mu mawanga g’ebweru naddala ery’Abacayina. Kyewuunyisa nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Uganda kiwa nnyo omukisa eddagala ly’ebweru okusinga eryaffe erya wano.” Dr. Tugume ayongedde okunnyonnyola.
Ye Ssaabawandiisi w’ekitongole kino, Dr. Abdul-Karim Musaasizi ategeezezza nti ekitongole kirina enteekateeka y’okutta omukago n’Obwakabaka okusobola okukulaakulanya obuwangwa. Annyonnyodde nti balina obweraliikirivu nti etteeka gavumenti ly’ereeta liyinza okulemesa abantu abawerako okukola eddagala ly’obutonde olw’obukwakkulizo obungi bwe babataddeko.
“Tufubye okulaba nti tusitula omutindo gw’eddagala lyaffe era tutandiseewo enkola y’okusoma ne tukuguka mu ddagala. Wabula tuli bennyamivu nti etteeka erireetebwa gavumenti ya wakati ku ddagala ly’obutonde, liyinza okuziyiza bannaffe bangi okukola omulimu guno.” Dr. Musaasizi.