
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alonda olukiiko olufuzi olw’Abataka oluggya
Olukiiko Beene lw’alonze lugenda kukulemberwa omukulu w’Ekika ky’Ekkobe, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandiikiddwa eri Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Jjajja Namwama Augustine Mutumba okuva mu woofiisi ya Ssaaabasajja Kabaka nga kiriko omukono gw’omuyambi wa Kabaka ow’ekyama, Douglas D Mukiibi, eraga nti obuvunaanyizibwa bwa bano bwakutandikirawo.
Ebbaluwa eno ennyonnyola nti Beene yasiimye amannya Omutaka Namwama ge yamuweereza mu Lubiri era abo abaalondebwa, Omutanda asiimye babeere ku lukiiko olufuzi olwa Ssaabataka oluggya.
Abalondeddwa ku lukiiko luno be bano;
1). Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba – Ssentebe w’olukiiko
2). Omutaka Nsamba Aloysious Lubega Magandaazi – Mmemba
3). Omutaka Kidimbo Grace Kizito Bakyayita – Mmemba
4). Ssaababiito we Kibulala Sam Walugembe – Mmemba
5). Omutaka Nakigoye Samson Nabbimba – Mmemba
6). Omutaka Muteesaasira Keeya Ttendo Namuyimba – Mmemba
7). Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa – Mmemba









