Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bukuzizza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu olubaawo nga 8, October n’okujjukira bwe giweze emyaka 59 bukya Buganda eddizibwa bwetwaze bwayo okuva ku Bungereza mu 1962.
Emikolo emikulu gibadde mu Lubiri e Mmengo era olunaku luno luyindidde wansi w’omulamwa, “Okunyweza Bulungibwansi ky’ekitiibwa ky’omwami.”
Omukolo gutandise n’okusaba okukulembeddwa Msgr. John Wynand Katende nga gwetabiddwako baminisita b’Obwakabaka ne Gavumenti eyaawakati, Katikkiro eyawummula Owek. Daniel Muliika, Abalangira n’Abambejja, Abaami b’amasazza, bannaddiini, bannabyabufuzi n’abantu abalala.
Omutanda atandise na kulambula birabo ebyavudde mu Masaza ag’enjawulo era n’abisiima okufuuka Amakula.
Oluvannyuma Nnyinimu ayogeddeko eri Obuganda era n’asiima abantu bonna abakoze ennyo okutuusa Buganda weeri era n’asaba abakulembeze okukozesa emyaka 59 egy’Ameefuga okutumbula eddembe ly’obuntu awamu n’okuteekawo obwenkanya bwe baba baagala ensi okukulaakulana.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde wano n’asaba abantu abeesenzezza ku ttaka ly’ennyanja ya Kabaka nga bano bagyonoona n’okusuulamu kasasiro, bw’atyo n’asaba ekitongole kya Kampala City Council Authority okusitukiramu ku nsonga eno.
Owek. Mayiga asabye abantu bonna abalwanirira obutonde, okukwatagana n’Obwakabaka basobole okutaasa obutonde bw’ensi kuba kye ky’obugagga ekisinga omuwendo mu nsi Uganda.
Ono annyonnyodde nti Bulungibwansi asaana atandikire mu maka, n’asiima abaami ba Ssaabasajja okussa mu nkola ebiragiro by’Omutanda mu bantu.
Ate ye Minisita wa gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza, Owek. Christopher Bwanika ategeezezza Nnyinimu ku ngeri essaza lya Kyaddondo gye lyasobodde okuwangula empaka z’essaza erisinze okutambuza obulungi emirimu.
Ate ye Minisita w’ettaka, Bulungibwansi, obulimi n’obwegassi, era nga yabadde ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo yeebazizza nnyo bannamikago olw’enkolagana ennungi.
Ate ye omwami wa Kabaka akulembera essaza Kyaddondo, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa agambye nti ekirabo ky’obukadde 5 n’obuwanguzi bwe batuuseeko ng’essaza, bubawadde omukisa okwongera amaanyi mu buweereza n’entambula y’emirimu.
Oluvannyuma Omuteregga asiimye n’alambula ssitoowa ya Bulungibwansi era n’akwasa ab’amasaza ebyuma bya kkompyuta n’ebyuma ebyokya empapula.
Ebyuma bino bibalirirwamu obukadde obusoba mu 50 nga bino bigenda kuyungibwa ku mutimbagano gwa yintaneeti okutumbula empeereza.
Kinajjukirwa nti Uganda bwe yali tennatuuka ku meefuga gaayo nga 9, October 1962, Buganda ye yasooka okufuna obwetwaze bwayo nga 8, October, ng’olunaku luno Omutanda yasiima lufuulibwe olwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu era lukuzibwa buli mwaka.