Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’ebidduka mu ggwanga etegeezezza nti abantu 252 be babadde bafiira mu bubenje omwezi oguwedde nga bano be bantu 7 buli lunaku.
“Obubenje 1470 bwe bwagwawo mu mwezi gwa September, 2021 era ku buno, abantu 229 be baabufiiramu ate 1054 ne bafuna ebisago.” omwogezi wa poliisi y’ebidduka, ASP Faridah Nampiima, bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Nampiima, obubenje buno okusinga bwavudde ku kuvuga ndiima awamu n’okuvugisa ekimama, nga buno okusinga bwavudde ku bavuzi ba boodabooda.
Nampiima annyonnyodde nti wadde emmotoka mu bifo ebirimu ebizimbe erina kudduka kiromita 50 buli ssaawa ate 80 kiromita ku nguudo ezigenda ewala, naye abantu kino tebakigoberera ekimu ku bintu ebyongedde obubenje.
“Bw’oba ovuga emmotoka entono tolina kusukka kiromita 100 buli ssaawa ate ezisaabaza abantu tezisussa kiromita 80 buli ssaawa.Era kino kye kimu eri emmotoka ezitwala ebyamaguzi. Naye buli bantu lwe batuuka ku nguudo ezigenda ewala, badduka emisinde mingi kuba tewabeera kalippagano naye eno ebeera nsobi.” Nampiima bw’ategeezezza.
Kino kimenya akawaayiro nnamba 120 ak’etteeka lya Tulafiki 2000 erigamba nti omuntu yenna akwatibwa ng’asusse sipiidi eragirwa abeera azizza omusango ng’atanzibwa wakati w’emitwalo 30 n’akakadde kamu n’emitwalo 20.
Nampiima agamba nti singa omusango gukusinga, osobola okusibwa wakati w’emyezi 6 n’emyaka 2 wadde nga poliisi esinga kwagala kubaweesa ngassi.
Alipoota ya poliisi eraga obuzzi bw’emisango egya 2020, yalaga nti obubenje 3663 bwe bwali mu ggwanga era abantu abaabulimu baali wansi w’emyaka 35 era mu mwaka gwonna abantu abaafiira mu bubenje baali 3,663.