Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya kyaddaaki kkooti emuyimbudde ku kakalu kaayo.
Ono ayimbuddwa kkooti enkulu ewozesa emisangoi egiri ku ddaala ly’ensi yonna eya International Crimes Division of the High Court’ etuula mu Kampala. Kinajjukirwa nti okuyimbulwa kwa Ssegirinya kwali tekwasoboka oluvannyuma lw’eyali amweyimiridde ng’ono ye mubaka Zaake, okugenda mu ggwanga lya Amerika.
Ssegirinya avunaanibwa wamu n’omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana ku bigambibwa nti be bamu ku bali emabega w’ettemu ly’ebijambiya eriri mu kitundu ky’e Masaka. Era omulamuzi yali akkirizza okubayimbula ku kakalu ka ssente obukadde abiri mu buli ezoobuliwo.
Okusooka Ssewanyana yayimbulwa kyokka naye n’addamu n’akwatibwa nga yaakafuluma ekkomera e Kigo n’alekayo Ssegirinya, olw’ensonga nti Zaake eyali amweyimiridde yali agenze bweru wa ggwanga.
Bw’atyo Ssegirinya yasigala mu kkomera olwo bannamateeka be ne batandika okunoonya omuntu gwe basobola okuzza mu kifo kya Zaake.
“Mu nsonga zino, bannamateeka baffe babadde bakola obutaweera okulaba engeri gye basobola okumaliriza okuyimbulwa kwa Ssegirinya olwaleero. Omubaka Nsanja Patrick y’azze mu bigere bya Zaake bw’atyo n’asobola okweyimirira Ssegirinya,” ekiwandiiko okuva mu kibiina kya NUP bwe kisomye.
Wabula ekya Ssegirinya okufuluma ekkomera kiyinza okuba ekyekiseera ekitono era abasinga batya nti ekyatuuka ku Ssewanyana naye kiyinza okumutuukako akadde konna.
Kigambibwa nti abeebyokwerinda okukwata Ssewanyana kyava ku kazito akaabateekebwako Pulezidenti Museveni awakanya ekyabantu abali ku misango gy’obutemu okweyimirirwa.
Oluvannyuma lw’okuyimbula ku Lwokutaano, eggye lya UPDF lyavuddeyo ne litegeeza nga Ssewanyana bwe yabadde agguddwako emisango emirala egyekuusa ku ttemu ly’e Masaka.