
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asiimye ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’ensero eya Silverbacks, olw’omutindo omulungi gwe baayolesezza mu mpaka z’amawanga ga Afirika ezaabadde mu Rwanda gye yasobodde okutuuka ku luzannyo olukulembera oluddirira olw’akamalirizo (Quarter Finals).
Okulaga okusiima kuno, Mukuumaddamula asinzidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano gy’abadde asisinkanidde ttiimu ya Silverbacks awamu n’abakulembera omuzannyo guno mu ggwanga abakulembeddwamu Nasser Sserunjogi, Omukulembeze w’ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya Federation of Basketball Association.
“Mbakulisa okutuuka ku luzannya olukulembera olw’akamalirizo ekyo kyali kinene. Naye amaaso gammwe mugaggye ku mizannyo egyayita mumanye lwaki twakomawo. Mulwane okulaba nti oluddako tweyongerayo. Naye mu mizannyo totunuulira mizannyo giwedde wadde obuwanguzi bw’otafunye.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga abakuutidde okunyweza empisa mu bazannyi, mu bagiramula n’abawagizi era bawang’ane ebitiibwa bwe baba baagala okugenda mu maaso okubaako bye batuukako mu ggwanga.
Abasabye okwesamba ebyamasanyu basobole okufuna obudde obubamala okuwummula bwe baba baagala okutwala ekitone kyabwe mu maaso era n’abalaga obukulu bw’okukozesa omukisa gwe bafunye okwezimba n’okukyusa obulamu nga beesigamye ku kunoonya amagezi agabaggya mu kusoomoozebwa okwenjawulo.
Owek. Mayiga asuubizza okwongera okukolagana n’ekibiina kino era n’okulowooza ku kirowoozo ky’okugatta omuzannyo gw’ensero mu mizannyo gy’ebikujjuko ebikulemberamu amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka, okwongera okutumbula omuzannyo guno.
Minisita w’ebyemizannyo mu Bwakabaka, Henry Sekabembe Kiberu asabye gavumenti okuyambako bannabyamizannyo okutumbula ebitone byabwe era n’abazannyi n’abawa amagezi okwongera amaanyi mu bye bakola.
Akulembeddemu ttiimu eno era akulira ekibiina ekitwala omuzannyo gw’ensero, Nasser Sserunjogi asinzidde wano n’asaba gavumenti okwongera okuteeka ssente mu by’emizannyo, kibayambe okukendeeza ku bbula ly’emirimu awamu n’okwongera okutunda ekifaananyi ky’eggwanga.









