• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atongozza eng’oma Ggwangamujje okulwanyisa COVID-19

Gambuuze by Gambuuze
September 22, 2021
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atongozza eng’oma Ggwangamujje okulwanyisa COVID-19
0
SHARES
54
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza eng’oma Ggwangamujje egenda okukubwa Abaami ba Kabaka mu nteekateeka y’okukunga abantu ba Beene wonna mu Buganda okusitukiramu balwanyise ekirwadde kya Ssennyiga Corona era n’asaba Abaami okukulemberamu olutalo luno.

Enteekateeka eno ebadde mu Bulange- Mmengo ku Lwokusatu era Mukuumaddamula asinzidde wano n’asaba abantu okumanya akabi akali mu bulwadde buno obwa Lumiimamawuggwe.

“Kambabuulire empologoma eyatulumba ye Lumiimamawuggwe, etusensera, etulya tetulaba era tetutegedde kuba ffenna abali wano tusobola okuba nga tulina obulwadde nga tetumanyi, ayinza okuba mu ngalo, leka kwekwata mu nnyindo, mu maaso, mu mimwa. Akabi kajja tulina okutegeeza ensi nti empologoma ezze naye bwe weerwanako ogiwona naye bwe weekwata ku maaso ekulya.”

Kamalabyonna Mayiga agamba nti mu buli mbeera, eggwanga lirina okusoosowaza ebyobulamu era n’asaba Abaami ba Kabaka okukulemberamu olutalo ku Lumiimamawuggwe nga Beene bwe yalagira.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, ekisinga okutta bantu mu bulwadde buno kwe kuba nti obulwadde buno bwetooloddwa obutamanya era abantu n’ebintu ebyandibayambye babyesammula nga balowooza nti birimu akabi.

Mayiga asiimye aba Dreamline Products olw’obuyiiya mu kusaasaanya amawulire agakwata ku Sennyiga Corona kuba okuva edda obuyiiya bw’eng’oma omwali Saagalaagalamidde, Ggwangamujje n’endala, zaayambanga nnyo okutumbula embeera z’abantu n’okubakuuma.

“Mu Mirembe egyayita abalya ensi baali abo abalina ffeeza ne zzaabu, ekiseera ne kijja ng’abalina amatwale nga Bungereza. Ekiseera ne kituuka nga abalina amafuta be baliwo naye batugamba nti, oyo agenda okulya ensi mu biseera eby’omu maaso y’oyo ategedde ebyempuliziganya era atambula n’okumanya.” Owek. Mayiga bw’alambuludde.

Mu ngeri yeemu ku mukolo guno, Obwakabaka buyingidde mu ndagaano n’aba Dreamline Products nga ku lwa Buganda, Owek. Hajji Amisi Kakomo y’ataddeko omukono ate Kenneth Mulondo n’assaako ku lwa Dreamline Products.

Minisita omubeezi ow’ebyamawulire ne tekinologiya mu gavumenti eyaawakati,  Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo asinzidde wano n’asaba abasomesa beegemese kisobozese okwanguyiza gavumenti okukola enteekateeka z’okuggulawo amasomero era n’asaba abantu okwekuuma ekirwadde kino.

Omukungu wa Dreamline Products, Mw. Kenneth Mulondo ategeezezza nti basinzidde ku bukulu bw’eng’oma ne bakkiriza nti esobola okukunga abantu okusobola okulwanyisa Ssenyiga Corona.

Mu nteekateeka eno, eng’oma eno yaakukubibwa okukubiriza abantu okukola, okuteeka mu nkola ebiragiro by’abasawo ku kulwanyisa Ssenyiga corona nga mu bino kuliko; okunaaba mu ngalo, okwambala obukookolo, okwewa amabanga n’ebirala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.