• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abayizi bonna baakuyisibwa okugenda ku bibiina ebiddako – Ministule y’ebyenjigiriza

Gambuuze by Gambuuze
September 22, 2021
in Amawulire
0 0
0
Abayizi bonna baakuyisibwa okugenda ku bibiina ebiddako – Ministule y’ebyenjigiriza
0
SHARES
49
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Minisitule y’ebyenjigiriza egambye nti abayizi tebagenda kufiirwa mwaka n’ekakasa nti abayizi bonna bagenda kuyita okugenda mu bibiina ebiddako ng’olusoma luno olw’omwaka  2020/2021 luggwaako.

Wakati ng’abakwatibwako bonna basaba gavumenti eggulewo amasomero, omwogezi wa Minisitule y’ebyenjigiriza, Dennis Mugimba agambye nti ensi teyeetaaga kweraliikirira kuba ng’abatwala Minisitule embeera yonna ebali mu ttaano.

Mugimba ategeezezza bannamawulire ku Lwokusatu nti abayizi bagenda kuyita okugenda mu bibiina ebiddako baleme kufiirwa mwaka mulala.

“Buli muyizi agenda kuyita okugenda mu kibiina ekiddako. Tebagenda kufiirwa mwaka, abali mu P1 baakugenda mu P2 ate aba P2 bagende mu P3.   Bo abaana ab’emyaka 6 bajja kuwandiisibwa mu P1.” Mugimba bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Mugimba Minisitule erina enteekateeka egenda okulung’amya amasomero nga gaggulawo era balinze kuwabulwa kwa Pulezidenti ku ddi lwe balina okuggulawo oluvannyuma lw’amasomero n’amatendekero okuggalwa nga June 18, 2021 olwa Ssennyiga Corona.

Mugimba agasseeko nti batunuulidde okusooka n’abayizi abaali tebazze ku ssomero mu muggalo ogwasooka ogwa March 2020 era oluvannyuma n’abalala bajja kuddayo.

Ono asabye abasomesa okuvaayo beegemese kuba eno y’emu ku nsonga egenda okusinziirako okuggulawo amasomero.

Mugimba era alagidde abakulu b’amasomero okukakasa nti abakozi baabwe bagemebwa kuba bajja kukunyizibwa singa basangibwa n’omukozi atali mugeme.

Kati eggwanga lyonna lirindiridde okwogera kwa Pulezidenti Museveni ekiro kya leero okulaba oba an’aggula amasomero.

Bwe yali ayogerako eri eggwanga nga  July 30, 2021, Pulezidenti Museveni yategeeza nti okuggula amasomero kijja kwesigamizibwa ku bantu abakola mu masomero awamu n’abazadde.

Aba Minisitule y’ebyenjigiriza bagamba nti bamaze okugema  abasomesa 264,000 ne ddoozi esooka naye basuubira nti we banaggulirawo bajja kuba bagemye abasomesa emitwalo 55.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist