• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Ssegiriinya ne Ssewanyana babataddeko emisango emipya

Gambuuze by Gambuuze
September 15, 2021
in Eby'obufuzi
0 0
0
Ssegiriinya ne Ssewanyana babataddeko emisango emipya
0
SHARES
137
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Omuwaabi wa gavumenti atadde emisango emirala ebiri ku mubaka Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West awamu n’abantu abalala bana okuli; ogw’obutujju wamu n’okuteeka ssente mu bikolwa by’obutujju.

Bano bwe babadde balabiseeko mu kkooti y’omulamuzi esookerwako, Grace Wakoli, ng’ayita ku mutimbagano, ategeezezza kkooti nti omuwaabi wa gavumenti aliko emisango emirala ebiri gy’agasse ku bantu bano.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti bano wamu n’abalala abakyalya obutaala beetaba mu kutemula abantu wakati wa January ne August 2021 mu kitundu ky’e Masaka n’ebitundu ebirala.

Omuwaabi wa gavumenti Birivumbuka annyonnyodde kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso n’asaba kkooti eyongereyo omusango guno.

Omubaka Ssewanyana ne Ssegiriinya wamu n’abalala kati bavunaanibwa emisango mukaaga okuli egy’obutemu esatu, ogw’okugezaako okutemula omuntu awamu n’emisango emiggya ebiri.

Munnamateeka wa bano, Shamim Malende ategeezezza kkooti nti omuwaabi wa gavumenti alina eddembe okubaggulako emisango emirala naye n’abalabula okwanguya okunoonyereza okuzuula abatemu abalina okuvunaanibwa mu mateeka.

“Okusigala ng’abantu baggaliddwa mu makomera kibamalako eddembe lyabwe naddala eri abantu abaabalonda ne babasindika mu Palamenti. Bano kati basubiddwa entuula za Palamenti 6 era balina n’obutali butebenkevu mu nsonga z’ebyobulamu ezitasobola kukandaalirizibwa mu makomera.” Malende bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Malende, bano beetaaga obujjanjabi obwenjawulo.Omulamuzi agubadde mu mitambo, Wakoli agwongeddeyo okutuuka nga September 29 era n’asaba munnamateeka w’abawawaabirwa okuzza ensonga z’obulwadde bwa bano nga n’oludda oluwaabi lumalirizza okunoonyereza.

Bano basuubirwa okusindikibwa mu kkooti enkulu oluvannyuma lw’okunoonyereza kuba y’erina obuyinza okuwulira emisango ekika kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist