Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Poliisi e Mukono ekutte abasajja 6 ababadde batambula n’ebijambiya mu kiro nga kiteeberezebwa nti bano be bali emabega w’okusuula ebibaluwa ebitiisatiisa abantu nga bwe bagenda okubalumba babateme.
Kigambibwa nti bano baasangiddwa nga bakutte ebijambiya, embazzi awamu n’amafumu nga batambulira ku mmotoka mu kiro era nga tekyategeerekese gye baabadde balaga.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, annyonnyodde nti bino byabaddewo mu ssaawa 8 ez’ekiro era baabadde batambulira ku mmotoka nnamba UAX 664R nga kiteeberezebwa nti baabadde bagenda Namawojjolo mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.
“Abatuuze baatemezza ku poliisi n’ekwata abantu bano era kati bakuumirwa ku poliisi y’e Mukono. Abakwate batuuze b’e Kalagi mu Nakifuma,” Owoyesigire bw’annyonnyodde.
Ono annyonnyodde nti tewali muntu yenna yalumbiddwa era kino kyavudde ku bwangu poliisi bwe yakozesezza.
Bino we bijjidde nga poliisi efunvubidde okukola ebikwekweto mu bitundu ebyenjawulo okunoonya abali emabega w’ebijambiya n’okusuula ebibaluwa.
E Gomba, abantu babiri baakwatiddwa ku Mmande ku bigambibwa nti baabadde basuula ebibaluwa ebitiisatiisa okutema abatuuze. Poliisi mu kitundu kino egamba nti abakwate kuliko; Kosia Rwitare ne Fred Mbaddina Mutabazi, abatuuze b’e Nakaseeta mu Gomba.
Bano baasangiddwa n’ebijambiya era baliko n’omutuuze gwe baalumbye ne batiisatiisa okumutta okuggyako ng’abawadde emitwalo 10 era bano bakuumirwa ku poliisi y’e Gomba.