Bya Gerald Mulindwa
Nkoowe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, akungubagidde omugagga Bulayimu Muwanga Kibirige abadde amanyiddwa ennyo nga BMK eyafudde ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw’okumala akabanga ng’atawaanyizibwa kkookolo.
Mu bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwasomeddwa Katikkiro, Beene ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ayagala enkulaakulana ku buli muntu, alumirirwa era ayagaliza.
Katikkiro yeebazizza Hajji BMK olw’okuwandiika ekitabo ky’asuubira nti kijja kukyusa embeera z’abantu naddala abo banaakisoma.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Omugenzi BMK ye yatwalira Ssaabasajja Kabaka ekirowoozo ky’okudduukirira abalwadde ba Nnalubiri (Sickle Cell) era Beene yasinziira ku kirowoozo ekyo n’asiima emisinde gy’amazaalibwa ge egy’emyaka esatu egiyise giddukibwe wansi w’omulamwa gw’okulwanyisa Nnalubiri.
Okuziika kwetabiddwako Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, omumyuka w’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa, Minisita w’Ettaka Obulimi n’Obutonde bw’ensi, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita w’Enkulaakulana y’abantu, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Minisita omubeezi ow’obulimi n’Obwegassi; Owek Hajji Amisi Kakomo, Owessaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II, n’abakungu abawerako.