
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’abataka ba Buganda, Omutaka Augustine Mutumba asabye gavumenti ekozese obukugu bwonna okulaba nti enoonyereza era ezuule ensibuko y’ebijambiya mu ggwanga.
Okusaba kuno Jjajja Namwana akukoledde mu Bulange -Mmengo ku Lwokubiri mu lukung’aana lwa bannamawulire.
“Tusaba gavumenti yaffe eyaawakati okukola buli kisoboka wansi w’eggulu okwongera amaanyi mu bukuumi, okunoonyereza okwekikugu okutuuka ku kikolo, okukwasisa amateeka n’okunoonya okumalirawo ddala omuze gw’ebijambiya ogusuza abantu nga bakukunadde.” Namwana Mutumba bw’ategeezezza.
Omutaka Namwama agamba nti singa ensonga y’ebijambiya tefunirwa ddagala, esobola okuleetawo ekittabantu mu ggwanga ekiyinza okutabangula embeera.
“Kitukwasa ennaku n’okunyolwa n’okulukusa ezziga erisembayo, olw’okuttibwa kw’abantu nga basanjagibwa n’amajambiya abasigadde basigadde mu kyobeero n’okubundabunda nga badduka mu byalo byabwe okwetegula ekibabu.” Omutaka Namwama bw’annyonnyodde.
Kinajjukirwa nti abatemu b’ebijambiya baalumba ebitundu by’e Masaka okukkakkana ng’abantu abawera 30 bafiiriddwa obulamu ate abawerako ne batwalibwa mu ddwaliro n’ebisago ebyamaanyi.
Okusinziira ku Namwama Mutumba, tebasobola kutuula butuuzi nga abazzukulu baabwe battibwa, bw’atyo asabye gavumenti okubaako ky’ekolawo mu bwangu.
Namwama era asinzidde wano n’asaba abantu ba Kabaka okwongera okwekuuma nga bajjajjaffe bwe baakolanga, kibayambe okutaasa obulamu.
Okusinziira ku Jjajja Mutumba, emirundi mingi obumenyi bw’amateeka bubadde butandika mpola era eggwanga ne lyesanga ng’abalina okuziyiza emize gino beesuuliddeyo gwa Nnagamba olwo abamenyi b’amateeka ne bakajjala ku bannansi abagondera amateeka.
Ono annyonnyodde nti ebikolwa by’ettemu tebirina kifo mu mpisa z’obuntu bulamu era n’asaba abakola ebikolwa bino okusalawo ekituufu, ensi ebeere mu mirembe nabo basobole okugyeyagaliramu.
Jjajja Namwana era asinzidde wano n’asaasira Obuganda bwonna n’Eklesia olw’okufirwa kwa Ssaabasumba Yonah Lwanga.









