Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka b’oludda oluvuganya babiri okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North, basindikiddwa ku alimanda ne bavunaanibwa emisango ena egyekuusa ku ttemu eriri mu bitundu by’e Masaka.
Bano baali bayitibwa ku poliisi e Masaka okukola siteetimenti ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi, wabula bano ku Lwokubiri bazzeemu ne bakwatibwa era ne baggalirwa ku poliisi e Masaka.
Oluvannyuma basimbiddwa mu kkooti esookerwako e Masaka ne basomerwa emisango esatu egy’obutemu wamu n’omulala ogw’okugezaako okutta omuntu.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olubadde lukulembeddwa Richard Birivumbuka, Ssegiriinya ne Ssewanyana baategeka enkiiko ku wooteeri ya Kayanja Rest House ne Happy Boys mu Kampala nga bategeka okukola ettemu lino.
Birivumbuka ababaka abalumirizza okutemula Michael Nawa, Sulaiman Kakooza ne Tadeo Kiyimba abatuuze ba Kimaanya Kabonera mu mwezi oguwedde.
Bano Omulamuzi omukulu owa kkooti eno, Charles Yeteise abasindise ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga September 15, 2021 lwe banadda mu kkooti.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga eggulo ku Mmande yategeezezza bannamawulire ng’abamu ku bantu abaakwatiddwa bwe baavuddeyo ne balumirizza ababaka bano okutegeka enkiiko mu Ndeeba.
Bino we bijjidde ng’abantu abawera 30 battiddwa abeebijambiya nga bano okusinga bakadde era ekigendererwa ky’abantu bano, tekimanyise kuba tebalina kye batwala.
Ssegiriinya ne Ssewanyana kati beegasse ku bantu abalala 23 abaakwatiddwa ku ttemu lino.