• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kkooti egobye Omusango Kidandala gwe yawaabira Ssegiriinya

Gambuuze by Gambuuze
September 7, 2021
in Amawulire
0 0
0
Kkooti egobye Omusango Kidandala gwe yawaabira Ssegiriinya
0
SHARES
74
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Kkooti enkulu mu Kampala egobye omusango gwa Sulaiman Kidandala gwe yali yatwalayo ng’awakanya okulondebwa kwa Muhammad Ssegiriinya ku bubaka bwa Kawempe North ng’agamba nti talina buyigirize bumusobozesa kufuuka mubaka wa Palamenti.

Kidandala nga yakwata kyakubiri mu kalulu k’omubaka wa Kawempe North aka 2021 n’obululu 7,512,  yali yawaabira Ssegiriinya eyawangula ekifo kino n’obululu 41,197 olw’empapula z’obuyigirize ezitali zize.

Wabula akakiiko k’ebyokulonda nga nako Kidandala yali yakawaabira, kaasaba kkooti egobe omusango guno kuba omuwawaabirwa asooka Muhammad Ssegiriinya yali teyategeezebwako nti bamuwaabidde ng’etteeka bwerigamba.

Bannamateeka ba Kidandala baalemerako   nga bagamba nti Ssegiriinya baamutwalira ebbaluwa eraga nti bamuwaabidde mu kkomera e Kitalya wabula n’agaana okugikwata nga yeekwasa nti munnamateeka we taliiwo.

Ku Lwokubiri, Omulamuzi Henrietta Wolayo  omusango yagugobye ng’agamba nti bannamateeka ba Kidandala tebalina bukakafu bwonna bukakasa nti Ssegiriinya baamuwa ekiwandiiko ekiraga nti baamuwaabira ng’etteeka bwe linnyonnyola.

“Akulira ekkomera ly’e Kitalya yalina okukwata ekiwandiiko kino ku lwa Ssegiriinya.” Omulamuzi Wolayo bw’ategeezezza mu nsala ye esomeddwa  amyuka omuwandiisi wa kkooti eno, Agnes Alum.

Omulamuzi annyonnyodde nti ekiragiro ky’okuwa Ssegiriinya ebbaluwa emutegeeza nti baamuwabira kyali kirina kukolebwa ng’ebbaluwa bagiwa Ssegiriinya mu kkomera gye yali oba nga bayita mu akulira ekkomera lino eyalina okubawa lisiiti ekakasa nti  agifunye era  n’agitimba ne ku ‘Notice Board’ y’ekkomera.

Wolayo agamba nti wadde ebbaluwa eno baagitimba ku kkooti naye ate Ssegiriinya eyali mu kkomera tebaagimuwa.

“Kino kitegeeza nti ebbaluwa Ssegiriinya teyamutuukako. Omusango tegusobola kugenda mu maaso kuba omuwawaabirwa teyategeezebwa era ngugobye.” Omulamuzi Wolayo bw’ategeezezza.

Kino kitegeeza nti Ssegiriinya ye mubaka omujjuvu owa Kawempe North mu Palamenti nga singa Kidandala anaaba tajulidde ajja kuba alina okulinda omwaka gwa 2026 okuddamu okuvuganya asobole okusuuza Ssegiriinya entebe eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist