Bya Musasi Waffe
Masaka
Ekibiina ki National Unity Platform kiwangudde ebyalo ebisinga mukibuga Masaka mukulonda kw’abavubuka ku bukiiko bwabwe obw’oku byalo, okusinziira ku bivudde mu kulonda okwategekeddwa leero ku Lwokusooka.
Abavubuka ba NUP bawangudde ebifo ebilonderwamu ebisinga obungi mu divizoni ebbiri ezikola ekibuga Masaka nga basinze ku bannabwe aba NRM wamu ne Democratic Party (DP).
Ku kyalo Kimanya mu ggombolola ye Kabonera NUP yafunye obululu 43 neddirirwa NRM n’obululu 2 ate nga yo DP teyafunyewo.
E Ssenya mu Kimanya era mu Kabonera NUP yafunye obululu 44, NRM 10 ate DP teyafunyewo kalulu. Wabula e Kyamulibwa ebintu byakyuseemu owa NRM yafunye obululu 77 nawangula owa NUP eyabadde n’obululu 28 ate nga yo DP teyafunyewo kalulu konna.
Ate e Ssenyange mu Nyendo – Mukungwe divizioni NUP yafunye 46 ate nga DP ne NRM tebafunyewo kalulu. Nyendo ‘Parish’ NUP yakungaanyizza obululu 111 ate nga NRM ne DP baviriddemu awo.
Okusinziira ku bavubuka mukitundu kino okulonda kwabadde kwa mirembe wadde nga e Kijjabwemi ne Kirumba amannya ga bawagizi ba NUP tegabadde ku nkalala z’abalonzi.
Abavubuka beegudde mu malaka ekyawalirizza poliisi okukuba ttiyaggaasi okusobola okubagumbulula.
Embeera yatabuse era okukkakana nga omubaka wa pulezidenti e Masaka Herman Ssentongo ayingidde mu nsonga okukakkanya abavubuka ababadde bataamye.
“Tewali muntu yenna ali waggulu w’amateeka, kobeere nga oli mupoliisi kobeere nga oli w’akakiiko k’ebyokulonda. Lipoota gye njagala ani atagoberedde mateeka, ani yakoze nsobi ki?” Ssentongo bweyategeezezza.
Ono yasuubizza abawagizi ba NUP nga bwagenda okunoonya abasimudde amannya gabwe ku nkalala era bakolebweko kubanga kino kyabadde kikyamu.