Bya Gerald Mulindwa
Bulemeezi

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza kaweefube w’okulabirira emmwanyi ezibadde zisimbibwa munkola ya Emmwanyi Terimba ey’omwaka gwa 2020 e Bulemeezi mu Luweero.
Katikkiro Mayiga yagambye nti, “ Kaweefube ono wakuddabulula emmwanyi, ekintu kyonna bwokikola nga okusimba emmwanyi, olina okuziddaabiriza kubanga oluusi zifuna obulwadde”
Oweek. Mayiga yategeezezza nti okulima emmwanyi tekikoma ku kulima bulimi naye n’okufaayo ennyo okuzilabirira.
“Batugamba ntino tulina okunyumya n’emmwanyi, tulina okunyumya nazo emboozi. Okunyumya emboozi n’emmwanyi kwe kubeera nga tuzilambula nolaba obuzibu bweziba zifunye.” Katikkiro Mayiga bweyagambye

Mayiga yanyonyodde nti ebiseera ebimu emmwanyi zibeera zikuze nga zeetaaga okusalako gulyoke guleete emituunsi emiggya.
Kaweefube ono Katikkiro Mayiga yamutongorezza ew’omulimi w’emmwanyi Nathan Kaggwa, ku kyalo Kyevunze mu gombolola ye Butuntumula.
Mu ngeri yeemu Katikkiro agguddewo omusomo gw’abalimisa b’emmwanyi mu Buganda.








