Bya URN
Abantu 26 basimattuse okufiira mu nnyanja Nalubale e Entebbe ne ku bizinga bye Ssese mu disitulikiti y’e Kalangala ku Ssekukulu n’enkeera nga 26. Poliisi y’okumazzi yataasizza abantu bana okubbira ku biiki ya Aero ne Spenah Entebbe ate abala mwenda ne bataasibwa ku biiki ez’enjawulo e Kalangala. Abalala baataasiddwa balubbira bakolera ekitongole kya Swim Safe ekitaasa abantu okubbira ku nnyanja. Bano bonna babadde badigize ababadde bagenze ku bukujjuko eby’enjawulo okukuza ssekukkulu.
Ekitongole ekidduukirize ekya Red Cross nakyo kyayitiddwa okutaasa abantu 10 abaalumbiddwa abayaaye nga baagala okubabba.
Anthony Amanya, akulira poliisi y’okumazzi yategeezezza nti abo abadde babbira babadde batamidde saako n’okugenda mubifo ebirimu abantu abangi ekyabalemesezza okuwuga obulungi. Yalabudde abantu munnaku zino ezisigaddeyo okuyingira omwaka, okwewala okugenda mu bifo ebirimu abantu abangi kubanga ebisinga tebirina busobozi bwakubeera n’abantu abasukka mu 20,000.