Bya Pauline Nanyonjo.
Bulange – Mmengo.
Bannamawulire okuva ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo basiimiddwa Obwakabaka okuyita mu kabaga kaabwe akabategekerwa Minisitule y’amawulire buli mwaka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde ku mukolo guno n’ajjukiza bannamawulire abagasakira e Mmengo obukulu bw’omulimu gwaabwe era n’abasaba bagutwale nga nsonga nkulu ddala.

“Mulina okutegeera obukulu bw’omulimu gwammwe kuba ennaku zino obukulu bw’omulimu gwammwe bweyongedde kubanga omutimbagano gyajja, kyokka omutimbagano tegulina musunsuzi, oli akeera bukeezi n’ayogera ebintu nga byonna byonna alimba bulimbi era mujjukira ne mu biseera bya lumiimamawuggwe abantu buli omu y’alina eddagala kyokka nga si basawo, kale abantu balinda amawulire amatuufu okuva ku Bannamawulire abeesigika, kale mulina okutuukiriza obulungi omulimu gwammwe” Katikkiro Mayiga bw’anyonyodde.
Newankubadde omulimu gwa bannamawulire gulimu okusoomooza kungi, Kamalabyonna bano awabudde abagukola buli omu okutuukiriza ky’ateekedwa okukola mu budde nga bawa ekitiibwa omulimu gwabwe kw’ossa naabo abakozesa omutimbagano nga tebasaasanya mawulire ga bulimba.
Katikkiro Mayiga asiimye nnyo obuyiiya bwa bannamawulire abasaka ag’Embuga abatandiseewo ekirowoozo ky’okuggulawo ekittavvu ky’okutereka ensimbi nga wano akaama akakubye buli kinnoomu kwe kwegatta ku kittavvu ekyo kuba ekizibu ekisinga okukaabya abantu bulijjo bwe bwavu obusukiridde kale nga kisaanidde okufuna omusingi gw’okutereka ku nsimbi ze bafuna.
“Nneebazza nnyo mmwe abasaka amawulire ag’Obwakabaka, singa tukola ebintu ebingi ensi n’etabimanya tuba tutengenjjera bwerere kuba eky’amazima tukola ebintu bingi era Omuganda agamba nti atunda ayolesa… twagala ensonga z’Obwakabaka abantu bazitegere kale bwe musaasanya amawulire g’Embuga kitukola bulungi nnyo” Katikkiro Mayiga bw’asiimye ab’amawulire.
Ye Minisita w’Amawulire, Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke asiimye nnyo bannamawulire bonna olw’empeereza yaabwe omwaka guno nga bafubye okuwuliziganya nga bakozesa obukugu ne batagendera ku bigambo bya basekeeterera Obwakabaka kw’ossa n’empisa ku mikolo gyonna egibadde embuga

Omukwanaganya w’emirimu mu minisitule y’amawulire era akulira Buganda Media Center Frobisher Mujjuzi asiimye nnyo bannamawulire abasaka ag’embuga kuba tebakooye buli mulundi gwe bayitidwa ne bajjumbira era ne bafulumya amawulire g’Obwakabaka okutuuka mu nsi yonna.
Ssentebe w’olukiiko olukulembera bannamawulire abagasaka e Mmengo Annet Nalubwama alaze nti olukiiko lwe lwagala enkulaakulana ey’omuggundu mu bannamawulire erannga wagguddwawo SACCO eruubirira okulaakulanya bannamawulire bonna nga beeterekerayo ku nsimbi nabo basumuukeko mu by’enfuna byabwe.
Omukwanaganya w’emirimu mu minisitule y’amawulire era akulira Buganda Media Center Frobisher Mujjuzi asiimye nnyo bannamawulire abasaka ag’embuga kuba tebakooye buli mulundi gwe bayitidwa ne bajjumbira era ne bafulumya amawulire g’Obwakabaka okutuuka mu nsi yonna.
Bannamawulire bano baweereddwa ettu lya Ssekukkulu okubeebaza olw’omulimu amatendo gwe bakolera Obwakabaka.









