Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku nsi yonna okujjukira olunaku lwa Mukenenya era wano Minisita w’Olukiiko, Amawulire, era omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Noah Kiyimba wansizidde nasaba abantu abasangiddwa n’akawuka okunywerera ku ddagala.
Owek. Kiyimba agamba nti kisoboka bulungi omuntu abeera azuuliddwamu akawuka okuwangaala obulungi singa afuna eddagala mu budde era naalimira nga bwabeera alagiddwa abasawo abakugu.
Obubaka buno Minisita Kiyimba yabuwadde eggulo ku Lwokusatu mu Bulange e Mmenga bw’abadde awa obubaka bwa Buganda ku kujjukira olunaku luno olukuzibwa buli Decemba 1 okusobola okwefumiintiriza ku kirwadde kino.
Mu bubaka bw’Obwakabaka, kizuuliddwa nti Buganda y’ensingamu abantu abalina akawuka ka Mukenya, n’obutundutundu 8.9%, so nga era y’ensingamu abantu abali kuddagala eriweweeza ku Mukenenya ababalirirwa okuba 500,000.
Okusinziira ku Bwakabaka, Kino kivudde ku kubeera nti Buganda yesingamu ebibuga omuli n’ekibuga ekikulu, Kampala nga wano wokka abantu abasoba mu bukadde 12 ate era netwaliramu n’ebibuga ebiralam so nga n’abavubi bangi mukitundu kino.
Owek. Kiyimba agamba nti ezimu ku nsonga eziviiriddeko obulwadde buno okwongera okwegiriisiza mu Buganda mulimu; okunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala, obwenzi, okuba n’ababeezi abangi, obwavu, obutabanguko mu maka oluusi obuleetawo okwesasuza, okuba okunoonya obuweerero ebbali.
Okunoonyereza kuno era kunokoddeyo ezimu ku mpisa mu mikolo n’obuwangwa egiwa ebikolwa by’obuseegu ekyaanya, abantu obutakozesa bupiira, abakyala b’embuto okuzaalira mu bamulerwa era nga COVID-19 n’ Ebola nabyo byakola kinene okwongera ku kirwadde kino.
Minisita Kiyimba annyonnyodde nti wakati mu nteekateeka ya Buganda okulwanyisa ekirwadde kino, Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yasalawo akwate omumuli nga yasiima obuvunaanyizibwa buno bumuweebwe ekitongole ekirwanyisa Mukenenya mu nsi yonna ki UNAIDS, mu 2017.
Era Omutanda yawaayo emisinde gy’amazaalibwa ge gissibwe ku mulamwa ogw’okulwanyisa mukenenya okumala emyaka 3, okuva mu 2020 okutuuka mu 2022 okusobola okwongera okukimanyisa abantu.
Buganda era eriko emikago gyekoze n’ebitongole ekirwanyisa ekirwadde kino okuli UNAIDS, Uganda Aids Commission, Minisitule y’Ebyobulamu, UNDP, TASO n’ebirala okumalawo ekirwadde kino.
Owek. Kiyimba agasseeko nti Obwakabaka buvuddeyo n’enkola ey’Ebyoto ku ggombolola za Buganda zonna okutuusa obubaka ku bantu bamanye engeri y’okwekuuma Mukenenya era nebufuulibwa omulamwa mu mizannyo gy’Obwakabaka okuli omupiira gw’amasaza n’ebika.
Minisita ategeezezza nti Obwakabaka bwasuubira okulaba nga abantu obutundutundu 90 beekebeza; obutundutundu 90 ku balwadde bakkiriza okumira eddala, ate n’okulaba nga obutundutundu 90 kw’abo abamira eddagala, bakendeeza amaanyi ga kawuka.
Agambye nti ekigendererwa kino ky’atuukibwako era nga kati baluubirira okuweza obutundutundu 95, ku buli nsonga ekooneddwako waggulu.
Obwakabaka bukubiriza abantu okwongera amaanyi mu kwekebeza mukenenya; okwewala okwegadanga mu bavubuka; okwekuumira ku babeezi bammwe; okukozesa obupiira; abakyala okujjumbira amalwaliro nga bali mbuto; okujjumbira eddala eriziyiza akawuka okusaasaana; abaami okutayirirwa ate n’abalwadde okujjumbira okukozesa eddala mu butuufu bw’alyo.
Busabye n’abalwadde okufuba ennyo okulya obulungi, omubiri gufune amaanyi agalwanyisa akawuka.