Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwakuddamu okugema abantu Lumiima mawuggwe (Corona) okwekikungo okusobola okutuula ekirwadde kino ku nfeete.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde mu Bulange ku Lwokubiri okulambulula ku nteekateeka eno.
” Mujje babageme, temutya eddagala teririimu butwa wadde okubagaana okuzaala, okuva ennaku z’omwezi nga 20 – 23 April tugenda kuba tugema wano mu Bulange. Temweyibaala nti abalwadde bakendedde naye tekitegeeza nti obulwadde bwaggwayo,” Owek. Mayiga bw’alambuludde.
“Lumiimamawuggwe bulwadde bwa bulabe era buli muntu ali wano yamukosa nga abamu bafiirwa ababwe, abalala balwadde, abamu tebanabakutereera bulungi” Kamalabyonna Mayiga bw’agasseeko.
Katikkiro Mayiga agamba nti abantu bwebatabeera balamu tewali kyebasobola kukola era n’enteekateeka zonna ez’oku bakulaakulanya zigwa butaka.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti abantu basaanye okukomya okutya nti eddagala lino lirimu obutwa ate abalala nga balowooza nti lisobola okubagaana okuzaala nabasaba okutwala eky’okulabirako kya Ssaabasajja Kabaka eyagemebwa ng’ensi yonna eraba.
Ono asabye okusigala ku biragiro by’ abasawo okutuusa lwebalirangirira ekisembayo ku kirwadde kino ekitadde ensi yonna ku bunkenke.
Ye Minisita w’ebyobulamu n’embeera z’abantu b’ Omutanda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu ategeezezza nti ku mulundi ogwasooka mu Novemba 6-7 bagema abantu abaali bakunukkiriza mu 8000 nga bakolagana ne KCCA eyawaayo abasawo abakugu.
Owek. Nankindu annyonnyodde nti okugema tekubeera kwa Baganda bokka naye abantu ba Kabaka bonna kuba ekirwadde kino tekisosola.
Ono asabye abantu abatanagemebwa mulundi gwakubiri okuginona kuba kisobola okumubeerera obuzibu okulwanyisa COVID-19 era nabo abatuuse emyaka egigemebwa ekirwadde kino nabo okukozesa omukisa guno.
Enteekateeka y’omulundi guno ewagiddwa ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority n’ekitongole ki FHI360.