Bya Francis Ndugwa
Njeru
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, agguddewo empaka z’omupiira gw’amasaza ez’omwaka 2020 leero ku kisaawe kya Njeru Technical Grounds.
Omutanda asiimye n’ateeka omukono gwe ku mupiira ng’akabonero akalaga okukkiriza emipiira gino okusambibwa. Era Kabaka awuubidde abasambi ku njuyi zombi ng’akabonero akabalambula kubanga ku mulundi guno kino tekisobose olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Nnyinimu atuuse ku kisaawe ku ssaawa 8:30 era ng’ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Minisita w’ebyemizannyo, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, awamu ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki.
Omupiira ogugguddewo empaka z’omwaka guno, gubadde gwa kibinja kya Butikkiro, wakati wa Bulemeezi abalina ekikopo kino nga battunka ne Butambala.
Butambala y’esoose okulengera akatimba ng’eyita mu musambi Nsereko Sharif mu ddakiika eya 23 ey’ekitundu ky’omuzannyo ekisoose, wabula mu kitundu ekyokubiri, omuzannyi Kateregga Bernado n’ateeba ey’ekyenkanyi mu ddakiika ye 75.
Olunaku lw’enkya Ssingo egenda kuttunka ne Buluuli mu kibinja kino kye kimu ekya Butikkiro. Kinajjukirwa nti mu mpaka z’omulundi guno, temuli bawagizi olwa Corona wabula ng’emipiira gyonna giweerezebwa butereevu ku mikutu gy’Obwakabaka egy’ebyempuliziganya.