• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyemizzanyo

Akakiiko k’omupiira gw’ebika katandise emirimu

Gambuuze by Gambuuze
February 24, 2021
in Ebyemizzanyo
0 0
0
Akakiiko k’omupiira gw’ebika katandise emirimu
0
SHARES
90
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Akakiiko akaateekebwawo okutumbula emipiira gw’ebigere ogw’ebika wamu n’okulaba ng’abawagizi badda mu kisaawe kino, katudde enkya ya leero okutema empenda, emipiira gino gisobole okutinta.

Ssentebe w’akakiiko, Julius Kabugo

Enkya ya leero akakiiko kano katudde mu Bulange e Mmengo okulaba engeri gye kagenda okukolamu emirimu gyako.Ssentebe w’akakiiko kano, Julius Kabugo, ategeezezza nti emipiira gino baagala okulaba nga giganyula nnyo abavubuka nga bagyenyigiramu butereevu era basobole n’okutwala obukulembeze bw’omuzannyo guno yonna gye bali.

Abamu ku bakiise abalina okutumbula omupiira gw’ebika

“Tutuunulidde bye tulina okukola okulaba nti kkampuni zikomawo zongere okutuwagira. Twagala okulaba ng’emipiira gino gisobola okuganyula abavubuka kubanga be baba n’amaanyi n’ebiseera okwenyigira mu muzannyo guno.” Ssentebe Kabugo bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Kabugo, bagenda kwogerezeganya n’abakulu b’ebika basobole okubayamba okukunga bazzukulu baabwe okwettanira okuzannyo guno.

Kabugo agamba nti bakkaanyizza okutuukirira kkampuni z’amawulire ez’enjawulo zibayambe okwongera okuzza ettutumu wamu n’ekitiibwa ky’empaka zino mu Buganda ne Uganda.

Ono agamba  nti abantu bonna abali ku kakiiko kano abeesiga era akakasizza ng’omulimu guno bwe bagenda okugukolera mu budde obwabaweebwa

Kino kiddiridde Minisita w’Obwakabaka ow’abavubuka n’emizannyo, Henry Ssekabembe, okutongoza akakiiko kano Ssabbiiti ewedde n’akakwasa omulimu gw’okulaba nga kazza ekitiibwa ky’emipiira gy’ebika.

Akakiiko kano ak’abantu 9 nga  kakulemberwa Julius Kabugo katandise emirimu gyako mu butongole era mu bbanga lya mwezi gumu kaakwanjula alipoota ku bye kazudde eri Minisita Ssekabembe. Empaka z’ebika by’Abaganda zeetabwamu ttiimu okuva mu bika 52 ebya Buganda era  zaatandika okuzannyibwa  mu mwaka gwa 1950.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist