Bya Muwuluzi Yusuf
Masaka – Buddu
Abakyala okuva mu disitulikiti 30 okwetooloola Uganda, bayigiriziddwa ennima y’obutonde nga bakozesa ebigimusa ebya nnakavundira wamu n’okulimira ewafunda eri abo abatalina ttaka ddene.

Abaabangudde abakyala bano be bakulira ekibiina ky’abalimi abasookerwako mu Uganda wamu n’ekibiina ky’abalimi ekya Eastern and Southern Small Scale Farmers’ Forum (ESAFF) era omusomo guno gwayindidde ku nnimiro y’omukyala Josephine Kizza, esangibwa ku kyalo Busense mu Kibuga Masaka era ng’ono amanyiddwa nnyo mu nnima eno.
Okusinziira ku Balirayine Hakim akulira ESSAF n’abalimi abasookerwako mu Uganda, agambye nti omusomo guno gumaze ennaku nnya era essira balitadde mu kubangula abakyala kuba mu Africa abakyala be basinga okulima emmere eriibwa mu maka agasinga.
“Ffe ng’aba ESAFF, twagala nnyo okulaba nti abalimi bonna engeri gye balimamu teyonoona butonde, teyonoona ttaka, teriimu butwa wamu n’okwonoona embeera y’obudde nga bwe kiriwo kati.” Hakim bw’atyo bwe yayongeddeko. Wabula ono yavumiridde nnyo abaami abalima ne bakyala baabwe, wabula bwe bakungula ebirimiddwa, abaami ne babyeddiza bokka.
Bano baasomeseddwa n’okulunda wabula ng’obusa obuvaamu babukolamu biogas abawa amasannyalaze wamu n’ebigimusa. Ng’oggyeeko okulima mu ngeri y’obutonde, bano era baayigiriziddwa okulimira awafunda ng’oli asobola okukozesa ebikebe mwe yandisimbye ebimuli, ne basimbamu waakiri enva endiirwa.
“Tuyize okulima ebirime nga tetufuuyidde ku biteekamu butwa, era nga tetufuuyidde ttaka, ekintu ekiviirako enkuyege n’ensiring’anyi okufa ate nga bino bikulu nnyo mu kukuuma ettaka nga ddamu.” Muwanga Olivia omu ku baasomye bwe yategeezezza.