Bya Pauline Nanyonjo
Kampala-Kyaddondo
Ahishakiye Innocent JB muvubuka akozesa ennyo omutimbagano gwa TikTok, nga by’ateeka ku mukutu gwe, kumpi ebitundu kyenda ku kikumi (90%) ageegenya Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’addamu ebyo by’aba ayogedde. Ono kyaddaaki afunye omukisa okusisinkana omuntu gwe yegomba era n’amutottolera ku bimusikiriza.

Ahishakiye Innocent muvubuka kuva mu disitulikiti y’e Kisoro era Mufumbira kyokka agamba nti ayagala nnyo Obwakabaka bwa Buganda. Ono annyonnyodde nti ensonga ezamuviirako okugeegenya Owek. Mayiga y’engeri eyenjawulo Katikkiro ono gy’awerezaamu Ssaabasajja nga teyetiirirdde ate n’emiramwa egitali gimu gy’azze asimbako omulaka nga gigenderera okukyusa embeera za bantu. Bino nti byamusikiriza era ne bimwagazisa okwongerayo obubaka bwa Katikkiro ng’akozesa eddoboozi lye ku mitimbagano.
Ahishakiye ategeezeza nti ng’oggyeko okuyaayaanira okusisinkana omuntu gwe yegomba era gwe yenyumirizaamu, yayagala nnyo era okusisinkana Katikkiro amukkirize mu butongole okukozesa eddoboozi lye mu butambi bw’akola asobole okwongera okutambuza obubaka bwe okutuuka ku bavubuka mu mulembe Omutebi. Era alaze essanyu okwanirizibwa Embuga wamu n’abooluganda lwe.
“Abasinga abandaba balowooza nti Kamalabyonna kitange, abamu nti ndi muto we, ndi musajja Mufumbira era ewaffe neddira Nte, ate nga ndi mukatoliki era ndi muweereza mu kkanisa, nze ndi muganda ggereggere kasita nategeera nti ebigere bye byandeeta mu Buganda” Ahishakiye.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde wano okukubiriza abavubuka abakozesa omutimbagano naddala omukutu gwa TikTok okugweyambisa mu ngeri entuufu ng’akikaatiriza nti omutimbagano gusobola okubabika oba okubattuttumula okuainziira ku ngeri omuntu gy’asalawo okugukozesa.
“Gwe akozesa omutimbagano, okugufunamu kisinziira bw’ogenda okugukozesa okugeza eyasoma eby’amazzi oyinza okugenda ku mutimbagano n’obaako ebyamateeka by’osoma wamu n’okusoma ebirala kyokka osobola okukola obwa kitunzi kuba bangi abazze babukola nakyo kyamuganyulo, waliwo okusaasanya amawulire amatuufu, okutundirako ebintu n’emiganyulo emirala mingi” Mayiga bwawabudde era n’avumirira abo abalowooza nti omutimbagano balina kugukozesa kuyisaamu bantu ggaali.
Katikkiro munnamutimbagano Ahishakiye amukubirizza okumukopako ebirungi by’amulabako nga okukwata obudde, okusoma ebitabo, okunonyereza, okwewala okuyomba, obwerufu n’ebirala olwo naye lw’anakola emirimu n’aginnyikiza naye abantu abalala bamulabireko olwo Eggwanga lwe linaasobola okufuna abantu ab’omugaso.
Okusinziira ku kitongole ekivunanyizibwa ku by’empuliziganya mu Uganda ki Uganda Communications Commission (UCC), abavubuka abali ku mitimbagano egitali gimu bakola ebitundu 70 ku buli kikumi (70%) ku abantu abasoba mu bukadde ekkumi abagukozesa, ekiraga nti be basinga obungi, kale nga bwe bagukozesa obulungi kiggyayo obulungi obuli mu mutimbagano.









