Bya Ssemakula John
Kampala
Eggye ly’eggwanga erya Uganda People’s Defence Forces (UPDF), liwakanyizza ebyogerwa Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), nti abamu ku bannakibiina abaakwatiddwa e Masaka, bakuumirwa mu nkambi y’amagye.
UPDF esabye Kyagulanyi agoberere amakubo amatuufu mu mateeka amanye ekituufu abantu be we bali aleme kuwabya ggwanga.
Bobi Wine eggulo yategeezezza nti; Nubian li, Eddie Mutwe n’abalala 18 baabadde bakuumirwa mu nkambi y’amagye era nga bannamateeka n’enganda baagaaniddwa okubalabako.
Kino kiddiridde Kyagulanyi ne banne okukwatibwa e Kalangala bwe yabadde agenzeeyo okunoonya akalulu.
Abaakwatiddwa poliisi yavuddeyo n’etegeeza nti bagenda kuvunaanibwa omusango gw’okukola ebikolwa ebisaasaanya Corona ate abamu bavunaanibwe okuggya omukka mu mmotoka za poliisi awamu n’emisango emirala.
Enkya yaleero Kyagulanyi ayise ku mutimbagano n’agamba nti abalala ku ttiimu ye bakuumirwa mu bitundu by’e Masaka era ng’ekiro ky’eggulo baatulugunyiziddwa n’okukubwa mu ngeri embi ennyo.
Amyuka omwogezi w’eggye lya UPDF, Lt.Col Deo Akiiki, bwabuuziddwa ku by’okuggalira aba NUP mu nkambi z’amagye, ategeezezza nti si kituufu kuba bo bakola kimu kya kukuuma ggwanga nga litebenkedde.
Akiiki annyonnyodde nti wadde amagye gayitibwa okuyambako poliisi mu biseera ebimu, talina muntu yenna munnabyabufuzi gw’amanyi yasibiddwa mu nkambi z’amagye.
“Ebikwekweto byonna ebibeeramu ebitongole by’ebyokwerinda nga bikoledde wamu, bikulemberwamu poliisi, oyo yenna alina okwemulugunya muwa amagezi gy’aba asookera.” Akiiki bw’alambise.