Bya Francis Ndugwa
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze abantu ba Buganda okukozesa emikisa egiva mu gavumenti awatali kutabikamu byabufuzi basobole okwekulaakulanya naddala nga bakyalina embavu ezikola.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange ku Lwokubiri bw’abadde asisinkanye Minisita avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi mu gavumenti eyaawakati, Haruna Kasolo okuttaanya ku butya gavumenti zombi bwe zisobola okukolagana okutumbula embeera za bannansi.
“Ensonga ziri bbiri ezitasaanamu byabufuzi, esooka ya byabulamu tewabangawo nsonga ya byabulamu n’ogiteekamu ebyobufuzi. Ensonga eyookubiri, byankulaakulana tewaliyo ssente ewandiikiddwako kibiina kya byabufuzi. Ate omuvubuka ayagala okwezimba yeetaaga ssente okuzikozesa ng’entandikwa oba okugaziya akatale by’ebyo by’akola.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti enkola y’ebiibina by’obwegassi yeesigama ku kutereka, okufissa awamu n’okusinga era kibeera kyangu okuweza ssente zino kuba abatereka babeera bangi.
“Wano tulina sssuubi lyo Zambogo SACCO ne CBS- PEWOSA, ebittavvu bino twabikola kuyamba bavubuka kuba gy’emyaka egy’okukola era tujja kuteekateeka abakugu basisinkane abakugu oludda luno, tukkaanye ku ngeri gye tusobola okutambuza ensonga zino, zisobole okuyamba omuntu wa bulijjo.”
Katikkiro Mayiga abasabye bulijjo bawang’ane amagezi ku nsonga y’okusiga, okutereka n’okufissa, basobole okwekulaakulanya.
Owek. Mayiga ategeezezza nti baanirizza Minisita Kasolo kuba nti ebitundu 70 ku buli 100, bavubuka abeetaaga okuyambibwako okusobola okukulaakulanya ensi Buganda ne Uganda.
Minisita Haruna Kasolo ategeezezza nti ku mulundi guno (Parish Development Model) batunuulidde gavumenti ez’ebitundu nga baagala okulaba nga buli muluka bataddewo SACCO era ekiruubirirwa kyabwe kwe kulaba nga buli SACCO ku zino eweebwa obukadde 100 buli mwaka, abalimi n’abantu ba bulijjo basobole okwekulaakulanya.
“Enkola nnungi nnyo singa ebeera ekulembeddwamu ggwe mukama wange, abasajja n’abazaana ba Ssaabasajja ne bagitegeera bulungi neb bagyeyamba, ejja kusobola okubagobako obwavu. Tesosola ate si ya byabufuzi.” Kasolo bw’annyonnyodde.
Minisita Kasolo agamba nti tebagenda kuddamu kugaba nsigo nga bwe gubadde era oli bw’aba ayagala enkoko oba okusimba emmwanyi, ajja kuba alina kugenda ku muluka mu SACCO ne yeewola ssente olwo ne bamuwa ebbanga, olwo asasule nga amaze okukungula ku magoba agatasukka bitundu 8 ku buli 100.
Ono asabye Katikkiro Mayiga batuule balabe engeri gye basobola okutta omukago ne bayamba ku bantu naddala abo abatasobola kugenda mu bbanka kwewola nga tebalina musingo, basobole okubafunira entandikwa.
Minisita Kasolo alabudde nti bwe banaaba bakwataganye n’Obwakabaka ne babuwa ssente, bajja kubeera bakakafu nti zijja kutuuka ku bantu bawansi ku magoba amatono ddala ag’ebitundu 8 oba 5 ku buli 100, basobole okuyamba abantu.
Ono alaze okutya ku bantu abalemwa okwawula ebyobufuzi ku nkulaakulana era nga bwe wabaawo omuntu avaayo okwogerera gavumenti, balowooza nti baguliddwa n’abasaba okwettanira enteekateeka za gavumenti si nsonga bajagala oba nedda.
Mu nsisinkano eno, Katikkiro awerekeddwako Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Minisita w’ebyamawulire mu Bwakabaka, Noah Kiyimba, Minisita Henry Ssekabembe awamu n’abakungu abalala.