Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo alambudde abakozi mu Essuubiryo Zambogo SACCO okulaba entambuza y’emirimu, okubazzaamu amaanyi n’okubakubiriza okusitula omutindo mu byonna bye bakola ng’Obwakabaka bwe bukutte n’amaanyi enteekateeka eno.

Owek. Serwanga akubirizza abakozi mu SACCO eno okufuba okukuumira ekifaananyi kyayo waggulu, bewale ekyejo ate n’abewozi abefuula ab’ekyejo babakwate mu ngeri ennungamu okulaba nga seente z’ekittavvu kino zikuumibwa mu mazima olwo bonna bammemba bafune empeereza ez’omutindo.
“Nzize kubazzaamu maanyi n’okubategeeza nti emirimu tugiraba era tusiima engeri gye mugitambuzaamu, tuli nammwe ekiseera kyonna okulaba nti ekiyongole kyongera okusituka bammemba bongere obungi era omutindo nagwo gusituke” Minisita Serwanga agamba nti buli wonna wabeera wabaawo kukula era ne Essuubiryo Zambogo SACCO ejja kwongera okukula.
Owek. Serwanga agamba nti Ssaabasajja Kabaka mu kuggulawo ekittavvu kino, yayagala abavubuka basigibwemu ensigo ey’okwemanyiza okukola, okufisa, okutereka n’okusiga. Agamba anti mu kutereka abantu basaana bafunemu ekyo kye bagenderera, bwatyo akubirizza abakola mu SACCO eno okukuuma obulungi ssente z’abantu ate nabo okubeera abegendereza mu kukola ssente ate bakuume n’obulamu bwabwe beewale obufere oba obubbi obuyinza okuva kw’abo abenonyeza ebyabwe.
Ssenkulu wa Essuubiryo Zambogo SACCO, Omuk. Gorreth Nassuuna asiimye nnyo obugenyi bwa Minisita buno n’ategeeza nti bugenda kubongera amaanyi mu ntambuza y’emirimu naddala nga basinziira ku kulungamizibwa kw’abawadde batuukire ddala ku mulamwa gw’Obwakabaka olw’okusitula omutindo.

Omuk. Nassuuna akowoodde abantu okwongera okwegatta ku Essuubiryo Zambogo SACCO ku mpeereza zaayo ez’enjawulo omuli; okugula emigabo, okutereka, okwewola n’endala.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Ssentebe wa bboodi ya SACCO eno Owek. Joseph Balikuddembe, Omukwanaganya w’Abavubuka mu Buganda Owek. Hassan Kiyemba n’abakozi b’ekitongole kino.









