Bya Pauline Nanyonjo
Bulange-Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga bulafuubanira abantu baabwo okusitula omutindo, bukwataganye n’ekitongole ekyabakana n’eddimu ly’okusaasanya amazzi amayonjo mu bantu ki Community Intergrated Development Initiatives – CIDI okusomesa abantu abenjawulo okuva mu masaza ga Buganda agatali gamu ku ntereka n’enkuuma y’amazzi amayonjo nga omusomo guyindidde ku Bulange e Mmengo.

Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke y’agguddewo omusomo guno, n’asaba abantu okwekubiriza okukuuma Amazzi okuyita mu nkola nga; okulembeka ag’enkuba kubanga basobola okugakozesa mu biseera eby’ekyeya okufukirira ebirime byabwe n’okugakozesa awaka.
“Bannaffe mwenna singa mulembeka amazzi nga enkuba ettonye kuba oluusi osanga abantu abagenda ku luzzi nga enkuba yakakya ku makya naye mbasaba nti tulina okukuuma amazzi kuba amazzi bw’olembeka tugeze mu ttanka gasobola okubatwaaza okumala emyezi ebiri kale tukibirize abantu baffe okusobola okulembeka amazzi tugakozese emirimu egyenjawulo” Minisita Kazibwe.
Minisita Kazibwe ku nsonga y’emu akubiriza abantu bonna abawangaala n’abaana abato okubayigiriza obuyonjo obw’omuggundu okugeza okubayigiriza okunaaba mu ngalo, okubalaga nti amazzi g’okumywa gafumbibwa kale olwo lwe banatukiriza enteekateeka y’Obwakabaka eya situla omutindo.
Ssentebe wa boodi ya Bulungibwansi Hajjat Aphwa Kaawaase nga y’asabuukuludde obubaka bwa minisita wa Bulungibwansi, obutondebwensi, amazzi n’ekikula kya bantu, Owek. Mariam Mayanja akubirizza abazze mu musomo okukuuma amazzi we gava wamu ne we gagenda nga ebifo byonna biyonjo.
Minisita Mayanja asabye abo bonna abasomesedwa okukola enteekateeka y’engeri gye banaakuumamu amazzi olwo bayambeko abantu abalala eyo ku byalo okutuukiriza ekiruubirirwa ky’amazzi amayonjo nga gamala. Omukwanaganya w’ekitongole kya CIDI mu Uganda, Katende David alaze nti ekitongole kino, omulimu omukulu gwe basaako essira kwe kulaba nti abantu balina amazzi amayonjo ge bakozesa mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.
Omukwanaganya w’obutondebwensi mu Bwakabaka Teddy Nabakooza Galiwango alaze nti omusomo guno baakusomesa abo abagwetabyemu enkunganya y’amazzi ey’omutindo wamu n’entereka yaago. Ono alaze nti era baakusomesa abantu bano ku nkuuma ye bifo ebivaamu amazzi nga entobazzi naddala mu kibikuuma n’okubiyonja.









