Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Bino byogeddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Obwakabaka bwe bubadde butta omukago ne bbanka ya NCBA okwongera okutaasa obutonde mu nteekateeka y’okusimba Ekibira kya Kabaka.

Oweek. Waggwa musanyufu nnyo olw’enjogera n’okwolesebwa kwa bbanka ya NCBA okugamba nti “tulina okulaba nga tubeerawo mu nsi muno mu ngeri ey’olutenteezi mu bye tukola” gw’agamba nti tebakikomeza mu biwandiiko byokka wabula bakitadde ne mu nkola bwe babitaddemu engatto ne bagenda okutta omukago omugenda okuva enteekateeka y’okusimba “Ekibira kya Kabaka” mu lubiri lw’e Nkoni mu Buddu ku yiika 50 n’omusobyo.
Oweek. Waggwa akikaatiriza nti ensonga y’okutaasa obutonde mu Bwakabaka ya nkizo nnyo nga era ky’ekimu ku biruubirirwa ebyateekebwa mu nteekateeka nnamutayiika y’Obwakabaka 2023-2028 okulaba nga obutonde butaasiibwa, obugagga bwensibo bukuumibwe okuteekateekera emigigi eginajja mu maaso.
Omuwanika agamba nti Obwakabaka buliko we butuuse mu kaweefube ono nga bulina enteekateeka y’okulondoola emiti egisimbiddwa; nga girabirirwa, gifukirirwa, girimwa, gikoolwa, gitangirwa ebisolo okugirya olwo gisobole okukula n’olwekyo alina essuubi nti omukago guno gugenda kuvaamu ebibala bingi nnyo.
Minisita w’Obutondebwensi Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo agamba nti omukago guno gukkatiriza omulamwa oguteembetebwa Obwakabaka ogw’okutaasa obutondebwensi era akigumizza nti Obwakabaka bweteefuteefu okugutwala mu maaso ne yebaza aba NCBA okwegata ku kaweefube ono.

Akulembeddemu aba bbanka ya NCBA ye Ssenkulu wayo Mw. Mark Muyobo yebaziza Obwakabaka okubasembeza ku mulamwa guno era beyamye okunyweza enkolagana eno n’Obwakabaka. Mw. Muyobo agamba nti nga bayita mu nkolagana eno bagenda kuwaayo emiti ginnansangwa 20,000 egigenda okusimbibwa mu ssaza Buddu.
Omukago guno gwa myaka essatu (3) nga gugenda kuyambako okulaba nga ebigendererwa bivaamu enkyukakyuka ey’omuggundu.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’Amawulire Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Ssentebe wa Bboodi ya Butondebwansi Omuk. Hajjat Hafuah Kaawaase, abakulu okuva mu bbanka ya NCBA n’Obwakabaka.









