
Bya Miiro Shafik
Mmengo- Kyaddondo
Katikkiro wa Buganda akubirizza Abaganda okwesigama ku muwendo gwabwe okusobola okuwangula ebifo by’obukulembeze eby’enjawulo n’okutuuka ku buwanguzi mu bintu ebirala eby’enjawulo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga bino abyogedde asisinkanye abakulembeze b’abayizi Bannankobazambogo okuva ku Makerere University abakiise Embuga okuloopa olutabaalo lw’obuwanguzi bwe baatuukako bwe bafuna Guild President ow’e 91 ku Ssetendekero eno nga munnankobazambogo.
“Bwetuba abangi kituwa amaanyi, Abaganda ffe ggwanga erisinga obunene mu Uganda kumpi ne East Africa ne Africa, era obungi bwaffe kitegeeza emikisa emingi, akatale akanene, obusobozi obunene” Mayiga annyonnyodde.
Kamalabyonna wa Buganda agamba nti ne mu bukulembeze Abaganda basaana okwesigama ku muwendo gwabwe okusobola okuwangula mu kalulu ku bifo eby’enjawulo nga balonda abo abategeera ensonga za Buganda nga ne Kabaka bamusaamu ekitiibwa.
“Tulonde abo abaagala naffe byetwagala, abategeera bye tutegeera; ensonga ssemasonga ettaano, atakutegeera tayinza kulwanirira, gw’ate anaakulwanirira kw’ekyo ky’atamanyi…?” Mayiga.

Owoomumbuga wano wasinzidde n’akulisa Bannankobazambogo olw’okukunga obulungi obuwagizi obwabawanguza entebe y’akulira abayizi ku Ssetendekero wa Makerere omulundi ogwokusatu ogw’omuddiriŋŋanwa anti Ssentamu Churchill James yazze mu bigere bya Lubega Nsamba eyadda mu bigere bya Robert Maseruka.
Owek. Mayiga era akubirizza abayizi bano okubeera n’empisa, okufaayo ku misomo n’okwekuuma endwadde naddala mukenenya basobole okuwangula mu Nsi eno.
Ye Minisita w’Abavubuka mu Buganda Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, asanyukidde Bannankozambogo bano olw’okukiika Embuga naddala okuloopa ensonga z’obukulembeze, era abasabye bulijjo okuwagiragana beewale okwerwanyisa mu mbeera yonna kibayambe okufuna obuwanguzi mu biseera eby’enjawulo.
Minisita Serwanga era akubirizza abavubuka bulijjo okussanga ekitiibwa mw’abo ababasingako ate n’abali waggulu ku balala nabo okuteeka ekitiibwa mu ndowooza z’abalala olwo obumu obwo bubayambe okutuuka ku buwanguzi. Abasabye abaweebwa obuvunanyizibwa okubutuukirizanga kubanga abalala babeera babeesize okubakulembera mu mbeera zonna.
Omukulembeze w’abayizi e Makerere Ssentamu Churchill James yebazizza Katikkiro olw’okusembenzanga abavubuka okubaluŋŋamya wamu n’okubawa amagezi ku nsonga ezitali zimu. Asuubizza nti baakwongera okusitula ekifaananyi kya Nkobazambogo e Makerere ne mu ggwanga lyonna.

Ye Ssentebe wa Nkobazambogo e Makerere Ssemujju Moses ategeezezza nti bbo nga Bannankozambogo e Makerere ne mu ssettendekero endala benyumiriza nnyo mu kuwangula ebifo by’obukulembeze ebitali bimu ng’agamba nti kino kibayamba okutumbula eggwanga lyabwe n’okusitula ekifaananyi ky’ekibiina. Ono agamba nti benyumiriza nnyo mu Bwakabaka era bajjumbira enteekateeka ez’enjawulo nga emisinde gy’amazaalibwa ga Nnyinimu, Bulungibwansi n’ebirala.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abakulembeze ku lukiiko olukembera abayizi e Makerere (Guild Council) n’abakulembeze mu kibiina ki Baganda Nkobazambogo n’abalala.
Bano Katikkiro abasabye n’abamatendekero amalala, kino kibeere akalombolombo akakolebwa abayizi ababeera bawangudde ebifo by’obukulembeze eby’enjawulo bakiikenga Embuga okwongera okuluŋŋamizibwa ng’agamba nti kubanga Nkobazambogo y’emmerezo y’Abakulembeze mu Buganda.









